Kamisona akola ku by’okuwandiisa ettaka mu Minisitule y’ebyettaka alagidde ebyapa byonna omugagga Hamis Kiggundu byeyafuna ku ttaka lya Kabaka ekigo bisazibwemu kubanga yabifuna mu bukyamu.
Ensala eno eriko omukono gwa Baker Mugaino nga yakoleddwa nga 6, September, 2022 eraga nti omugagga Hamis abasinga gwebamanyi nga Ham yali yafuna ebyapa mu lutobazi lwe nnyanja Nalubaale nga akolagana n’abakulu abamu e Wakiso naye nga bitambulira ddala nebitwaliramu n’ ettaka lya Ssaabasajja Kabaka .
“Nga nkozesa obuyinza obumpeebwa etteeka ly’ ettaka akawaayiro nnamba 91, kizudde nti ebyapa ebiri ku bulooko ya Kyaddondo nnamba 273 ku poloti nnamba 23974, 23975, 23976, ne 23977 byagyibwa mu poloti nnamba 23720 era byakolebwa mu bukyamu. Ndagira bino okusazibwamu kuba bikyamu, ” Ekiwandiiko ky’ ensala bwe kyasomye.
Kino kiddiridde enjuyi zombi okuli olwa Hamis Kiggundu ne kampuni ye eya Kiham okugugulana n’ekitongole ekirabirira ettaka lya Kabaka ki Buganda Land Board kubwa nnannyini bw’ettaka lino eriwerako yiika 140 nnamba.
Obwakabaka bwa Buganda bwavaayo nebuyimiriza omugagga Ham eyali atandise okuteeka ekkubo wakti wa Mirembe Villas ne wooteri ya Serena Kigo nga ayagala okutuuka ku ttaka eriri mu lutobazi lweyali agamba nti lirye era nalaga n’ebyapa okukakasa kino.
Mmengo yalemerako nga Ham bweyali afunye ebyapa bino mu bukyamu era nesaba Kamisona akola ku kuwandiisa ebyapa mu Minisitule y’ebyettaka abisazeemu era enjuyi zombi nezikkiriza okwelula ensalo.
Wabula Alipoota ezaakolebwa abasaveya ku njuyi zombi zalaga nti waliwo ebyapa bya Freehold ebyali bituuziddwa ku ttaka lya Kabaka erya Mayiro okwali Poloti nnamba 23974, 23975, 23976 ne 23977 nga zonna ziri mu mannya ga Kiham Enterprises era zino zonna zaali ziteereddwa ku byapa bya mayiro nnamba 38, 87,99 ne 110 ebya Ssaabasajja Kabaka.
Ekiwandiiko kya Mugaino kyewuunya engeri Omupunta amanyi kyakola bwayinza okukwata ekyapa kya Freehold nakituuza ku Mayiro ekintu ekimenya amateeka.
Okusinziira ku kiwandiiko erimu ku ttaka lino eryaweebwa Ham lya lutobazi lwa nnyanja Nalubaale nga abawoofiisi y’ ebyettaka e Wakiso bakola nsobi okuwaayo ettaka lino nga bakimanyi nti luno lutobazi lwennyini.
Ensala eno era eraga nti Ham okufuna ettaka lino yasembebwa Kajjansi Town Council etwalibwa aba Makindye Ssaabagabo ku nsonga z’ettaka nakyo kyali kimenya mateeka nga n’okulisabayo kyali kikyamu.