Amawulire

Abakulira ekizimbe kya Freedom City bayitiidwa bannyonyole.

Police eyise abantu abalala abakwatibwako ekivvulu ekiggalawo omwaka 2022 ekyafiiramu abantu 10, ekyateegekebwa ku Freedom City mu Kampala.

Omutegesi w’ekivvulu Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abitex, yeyasoose okukwatibwa n’aggulwako emisango 10 egy’obulagajjavu.

 

Kakano abalala abayitiddwa babitebye kuliko ba manager b’ekifo awaategekerwa ekivvulu kino, abaayambako mu kutegeka ekivvulu, abaserikale ab’obwannanyini abaali bakuuma ekifo kino, eyali Kalabaalaba w’ekivvulu, ne bakanyama bayambeko police mu kunoonyereza kweriko.

Ekivvulu kino ekimalako omwaka 2022 n’okuyingira omuggya 2023 ekyali kitegekeddwa Abitex abantu baali bakijjumbidde mu bungi omwali n’abaana abato.

Kigambibwa nti wabula bwezaali ziwera essaawa mukaaga ez’ekiro, kalabaalaba w’ekivvulu (MC) n’ategeeza abadigize okufuluma okwelorera ku biriloliro ebyali bibwatuka okwetoloola Kampala era abawerako nebafuluma.

Kyokka nti abantu bwebaali bakomawo okuyingira mu kibbiitu, ensindikagano yali y’amaanyi nnyo, ekyabaviirako okwelinnyalinnya , 9 ne bafiirawo, n’omulala yafiiridde mu ddwaliro e Mulago.

Omwogezi wa police Fred Enanga agamba nti waaliwo obulagajjavu okuva mu bonna abaali bakwatibwako entegeka y’ekivvulu kino, naddala abaggala emiryango emiralala gyonna nebalekawo omulyango gumu gwokka, ogwali gutasobola kuyingiza bantu bonna abagambibwa nti baali basoba mu mitwalo 20,000.

Ebyo nga bikyali awo, Enanga ategeezezza nti poliisi egenda kufulumya ennambika empya ku bategesi b’ebivvulu bonna mu ggwanga, byebalowooza nti ssinga bissibwa mu nkola biyinza okutaasa ku butyabanga nga buno.#

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top