KIRUNDA FARUK yebaziza abasuubuzi obutegugunga wamu n’okusiima pulesident Museveni okukwata ensonga y’abasuubuzi n’obwegendereza Obutafananako nabwegugungo obuzze bulabwako mu kampalagamba nga okuwakanya okuwayo ekibira kya mabira okusimbamu ebikajjo ebyokukola sukali okwekalakasa kw’abasubuzi naddala ab’omukatale ke Nakasero , obwegugungo bwa 2020 obwakumwamu omuliro ba nabyabufuzi n’obwo obwaliwo nga banakisinde ky A4C omwafila abantu basalumanya abawera, okwekalakasa okwategekeddwa abasubuzi mukampala kwabadde kwa mirembe abantu abasing mu yuganda tebawula okwekalakasa okwemirembe n’okwokwegugunga abasing balowoza nti byonna bifanagana era beetaga okusomesebwa nti okwekalakasa okwemirembe kukirizibwa mumateeka . wanno omuntu oba abantu basobola okugala amadduka gabwe nebeddima okukola ng’abasubuzi bwebakoze mu kampala okutuula nebagana okukola omulimu gwonna okulaga bakamabe nti okwemulugunya kwayagala kukolebweko mu bwangu
LWAKI BASAALUMANYA BATIBWA MUBWEGUGUNGO
Okwegugunga kwo kubera kukozesa lyani nga ebiseera ebisinga abakutegeka babeera bagezako kugezesa amannyi gagavumenti era abantu bangi gyebigwera nga batiddwa.ekigendererwa ekikulu mubategeka obwegugungo kubeera kukuma muliro mubantu okusobola bbo okugusa kyebalowoza nti kyekitufu wamu n’okuvumaganya gavumenti wamu n’okugisuula .
ABASUBUZI ABAWAKANYA EFRIS MBEBEBAZA
Abasuubuzi abawakanya enkola ya EFRIS ensonga yabwe tebagigasemu bilara kino kinyonyola lwaki amaloobozi gabwe gebaayisiza mu bakulembezebabwe ababakikiridde ewa pulezidenti okugusa ensonga zabwe ez’obutali bumativuera banno bayanjulidde pulezident embeera y’okusoomoza gyebayitamu mukukola emirimu gyabwe okuli okubasasuza omusolo ogw’emirundi emingi nga n’egimu tebagitegera ebizibu ebibatawanya byategerekese nga kati entekateka y’okubisalira amagezi egenda mumaaso
KYETWANDIKOZE
NZE nno ndowooza nti kino kyekiseera bannayuganda tutwale obuvunanyizibwa bwaffe nga banansi nga siraba lwaki ensonga bwebera ekwata kumusola lwaki lwaki otandika okulima omuntu munno mulwanagane n’okwonona ebintu ensonga bwebera ekwata kukitundu ky’oluguddo olw’ononese ate era lwaki mukuma ebipiira okwonona olugugudo nga mukimanyi bulungi era mwongera kwonona
Yuganda gwanga eritambuzibwa kunfuga eyamateeka ne demokulaasiya ng’abali mubuyinza banguwa mangu okutegera okwemulugunya kwabantu baabwe wekuli ne bakukolako mukifo ky’okulwanagana.
ABASUUBUZI MWABADDE TEMUSAANA KWEDDIMA
KIRUNDA FARUK ng’ono mukugu nnyo mukunonyereza alaze nti lwaki abasubuzi babadde tebasana kweddima olwensonga enteseganya nebekikwatako olwokuba ensonga yabwe yabadde etegerekese eya EFRIS era nga yatukidde mukiseera nga entegeka eziwerako zitekeddwawo okuyambako okusoloza omusolo
LWAKI ABASUBUZI BEETAGA KUSOMESEBWA
FARUK agamba ekyandikoleddwa kwe kusomesa abantu baffe bategere enkyukakyuka ebera ereteddwa wabula sikubasulako nsuule era embeera eno yeyaleetedde nabamu okulowoza nti babaleetedde musolo mupya
Ekitongole kya URA kirina okukozesa obukodyo bwonna obusanyusa omuntu wamu n’obusikiriza abantu nadala abasubuzi kubanga bebawa omusologuno. Era URA erina okukwatila awamu nabakulembeze kumitendera egyenjawulo okusomesa abantu gamba nga ba RDC, abakwasibwa obuvunanyizibwa obw’okunyonyola enkola ya gavumenti. Kinajukirwa nti enkola eno tesokedde muyuganda mwoka wabula amawanga agatulilanye gamba nga kenya , congo, tanzanania enkola eno bagitandika dda okugikozesa
NNEEBAZA PULEZIDENT MUSEVENI.
KIRUNDA yeebaza Museveni olw’obukugu bweyayoleseza n’obwangu okunyonyola abasuubuzi omugaso gw’okuwa omusolo n’akiriza n’okwongera okusisinkana abasubuzi bonna ekololo nga 7/5/026