Amawulire

Abaana  bafiiridde mu nnyumba e Kajjansi.

 

Abaana basatu bafiiridde mu bifunfugu by’ennyumba y’omutuuze egudde e Nakigalala mu Kajjansi town council ku lwe Entebbe mu Wakiso.

Abafudde kutegeerekeseeko erinnya limu limu okuli Ssekatawa, Nannono ne Mwanje, ate ow’okuna addusiddwa mu ddwaliro ng’ali mu mbeera mbi, nga bonna baana ba Kakooza Mustafa.

Abadduukirize okuli ssentebe w’ekitundu Ssalongo Yoweri Mufumbiro, ne ssentebe wa L.C3 Kayondo Ndawula Albashir bategeezezza nti embeera y’ekisenge ky’abaana ekigudde ebadde mbi, nebasaba abatuuze okwekebejja enju zabwe naddala mu kiseera kino ekyenkuba etonnya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top