Amawulire

 Emmotoka ez’obwannanyini zitandika okukozessa digital number plates mu 2024 .

 

Enteekateeka ya government ey’okuteeka digital number plates mu bidduka etandise okussibwa mu nkola, etandise n’emmtoka za government.

Enkola eno eya Intelligent Transport Monitoring system agenda kuteekebwa mu bidduka byonna okuyita mu  namba plate, n’ekigendererwa eky’okuziyiza obumenyi bwamateeka obukolebwa ng’abantu bakozesa ebidduka

Technology ono yakoleddwa kampuni ya ba Russia eya Joint stock company, wadde ng’abaddemu okusika omuguwa okuva eri minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafire ne minister webyobutebenkevu Maj Gen Jim Muhwezi.

Gen Otafiire alumiriza nti ministry gy’atwala ebikwata ku ntegeka eyo tebimanyiiko, sso nga Jim Muhwezi agamba nti ensonga yayanjulwa mu lukiiko lwa baminister Otafiire mwatuula.

Enteekateeka esoose kugezesebwa mu mmotoka za government okumala emyezi 3, n’oluvannyuma assibwe mu mmotoka z’obwannannyini okutandika mu February wa 2024.

Bannyini bidduka byonna baweereddwa emyaka 2 okuba nga batadde number plate za Digital mu bidduka byabwe.

Minister we byetambula ne nguudo Gen Katumba Wamala agambye nti bagenda kuzimba kampuni e Bugolobi mu Kampala egenda okukola number plate zino eza digital.

Minister wobutebenkevu Maj Gen Jim Muhwezi agambye nti technology omujja wakuyamba okwongera obutebenkevu mu ggwanga.

Namba plate ya digital empya yakusasulwa emitwalo 700,000/=, enkadde zakukyusibwa emitwalo 150,000 sso nga boda boda zakusasula 50,000.

Government ya Uganda ewadde kampuni ya Joint Stock company emyaka 10 okuba ng’eggyeyo ssente zaayo zetadde mu technology Ono.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top