Amawulire

3 bafiiridde mu fakitole.

Poliisi y’e Mityana etandiise okunoonyereza, okuzuula ekituufu ekyavuddeko abantu 3 okufiira mu kinnya mu fakitole y’emwanyi eya Zigoti Coffee Factory ku kyalo Zigoti South mu Tawuni Kanso y’e Zigoti e Mityana.

Nga 3, November, 2023, Poliisi yafunye essimu okuva eri Mutagwa Musa, maneja wa Zigoti Coffee Works Limited nti abantu basatu (3) bafiiridde mu kinnya.

Poliisi okutuuka ku fakitole ng’abakozi 3 kituufu bafudde.

Bano kuliko

1- Sseguya Collins myaka 21 ng’abadde mukozi

2- Kimbuggwe James myaka 19 abadde mukozi

3- Mwigala Bashir myaka 25 naye abadde mukozi.

Okunoonyereza kulaga nti fakitole yafunye obuzibu mu kiseera ng’abakozi bakola emirimu gyabwe.

Abakozi bonna bakkiridde wansi okuzuula obuzibu obuli ku kyuma, ekyembi bonna bafiiriddeyo.

SP Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, agamba nti waliwo ebiraga nti wansi, omukka ogusibwa gwabadde mutono, ekyavuddeko abantu bonna 3 okufa.

Kawala agamba nti Poliisi erina okunoonyereza, okuzuula ekituufu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top