Amawulire

30 Bbaffu, abasoba mu 20 bali bubi, Bus ya link egudde kuluguudo lw’e Fortportal – Kabalore

Abantu 30 be bakakasiddwa okuba nti bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Fortportal okudda e Kyenjojo enkya ya leero.

Bus ya kkampuni ya Link nnamba UBA 003S  yeliggudde ekigwo ne yefuula emirundi egiwerako nga yakava mu kibuga kye Fortportal e Kabalore.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi ye bidduka Farida Nampiima ategezezza nti akabenje kano babaddewo ku ssawa 4 ez’okumakya,

“Bus ya Link eno ebadde edda Kampala okuva mu kibuga kye Fort portal ebadde yakatambulako kilomita 2 zokka era egudde mu kitundu ekimanyiddwanga Sebitoli”

Abantu 30 betukakasizza okuba nti bafudde kyokka tusuubira omuwendo guno okweyongerako oluvanyuma lwa batwaliddwa mu malwaliro okuba nti nabo babadde mu mbeera mbi.

13 ku bano babadde bantu bakulu ate 7 baana bato, 11 basajja ate 9 bakyala ebibakwatako tujja kubibabuulira” Nampiima bwagambye

Ayongeddeko nti abakoseddwa baddusiddwa mu ddwaliro lye Buhinga okufuna obujjanjabi

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top