Abantu 4 abakwatibwa ku misango gy’obutujju ne bakkiriza okuba abayeekera ba Allied Defense Forces (ADF), era basibiddwa emyaka 7 buli omuli oluvanyuma lw’okukkiriza emisango.
Bano, babadde ku limanda okumala emyaka 4 nga bali ku misango 9 era buli musango basibiddwa emyaka 7 kyokka ebibonerezo bigenda kutambulira wamu.
Bano kuliko
Faiswali Dhikusooka amanyikiddwa nga Sinaani Habwagi Faruku
Saruti Yona Muhindo, Musa Kamaya ne Farook Agaba.
Basingisiddwa emisango omuli
-Ogw’okubeera mu kibiina ki ADF
-Okuwagira ebikolwa eby’ekiyeekera
-Okukusa abantu okubayingiza obutujju n’emisango emirala.
Okukirizza emisango, abakwate babadde bakulembeddwamu munnamateeka waabwe David Kasadha ate oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Thomas Jatiko.
Bakkiriza okubasiba emyaka 7 wabula kkooti erina okusalawo ebbanga lya myaka 4 n’emyezi 3 gye bakulungudde nga bali ku limanda mu kkomera e Luzira.
Oluvanyuma lw’okukiriza emisango, batwaliddwa mu maaso g’omulamuzi Suzan Okalany owa kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna ne baddamu okubasomera emisango era ne bagikiriza, omulamuzi nabawa ebibonerezo.