Amawulire

Kansala w’ekyalo e Busaana  yatemeddwatemeddwa obufiififi.

Poliisi egamba nti ensonga za kansala akiikirira abalema ku ggombolola e Busaana eyasangiddwa mu makaage nga atemeddwatemeddwa nga omulambo gwe gugang’alamye mu kitaba ky’omusaayi zandiba nga zeekuusa ku butabanguko bw’omu maka.

Omuduumizi wa poliisi e Kayunga SP Rosette Sikahwa agambye nti bakutte Nnamwandu abayambeko mu kubuuliriza.

Sikahwa agambye nti baafunye amawulire agalaga nti abafumbo bano amaka gaabwe gabaddemu obutabanguko nga omukazi yeemulugunya nti omusajja abaliga era eggulo limu omukazi yakwatidde bba ejjambiya amuteme wabula abatuuze ne babataasa.

Ku ntandikwa ya wiiki omulambo gwa kansala George William Samanya gwasangiddwa nga gugang’alamye mu kitaba ky’omusaayi nga yenna atemeddwatemeddwa wabula nga mukazi we Joyce Nakyazze agenze mu nnimiro ekyavuddeko abatuuze okwebuuza engeri bba gye yatemeddwa ye omukazi n’atamanya ate nga basula wamu.

Bino byabadde ku kyalo Wanteete mu ggombolola y’e Busaana mu disitulikiti y’e Kayunga era nga Samanya abadde kansala w’abalema okumala ebisanja bitaano

Mwanyina w’omugenzi nga ye Sarah Nakisuyi agamba nti omugenzi yafunako ekibaluwa ki kiro kitwala omunaku nga kimulabula nga bw’ajja okuttibwa ssinga teyesonyiwa kuganza bakazi baabwe era wano Nakisuyi n’asaba poliisi nti ensonga eno nayo enoonyerezebweko.

Kansala Samanya yaziikiddwa ku kyalo Kibuzi mu ggombolola y’e Busaana ku biggya bya Bajjajja be.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top