Amawulire

Ebbeeyi y’amafuta eyongedde okulinnya mu Uganda.

 

Minisiture y’amasanyalaze,amafuta n’obugagga obwensibo agamba nti okulinnya kw’ebbeeyi y’amafuta mu Ugand kivudde ku bbbula lyago ku katale k’ensi yonna n’ebbeyi n’erinnya.

Mu kiseera kino liita y’amafuta mu uganda egula wakati wa shillings 4800 ne 5330.

Solomon Muyita omwogezi wa ministry y’amasanyalaze n’obugagga obw’ensibo agambye nti amawanga agasinga okutunda amafuta ku katale kensi yonna gali mu butiti olw’omuzira omuyitirivu, nti nga tekisobozesa mafuta kutuuka ku katale kensi yonna mu bungi ebbeeyi yaago n’erinnya mu nsi yonna SSo SSI mu Uganda yokka.

Minisiture eno ewadde bannayuganda amagezi mu kiseera kino beeyunire amasundiro gamafuta agatunda ku beeyi ensaamusaamu, kubanga temanyi mbeera eno wenaatererera.

Ensonga y’amafuta okulinnya ebbeeyi yayanjulwa mu parliament ku ntandiwa ya wiiki eno, sipiika naayita ba minister abakwatibwako ensonga z’amafuta okubaako byebatangaaza, wabula wiiki yatuuse kugwako nga tebalabiseeko.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top