AI News

716 batikiddwa ku Muteesa I Royal University, bakuutiddwa ku bukugu

Abayizi 716 batikiddwa ku Muteesa I Royal University, bakuutiddwa ku bukugu
Gambuuze by Gambuuze January 6, 2025 in Amawulire

Bya MUSASIWAFFE

Abayizi abawera 716 bebatikiddwa ddiguli, Dipulooma ne Satifikeeti mu masomo ag’enjawulo ku matikkira ga Ssettendekero wa Muteesa I ag’omulundi ogw’e 12.

Omukolo guno guyindidde ku kitebe ekikulu ekya Ssettendekero ono e Kirumba Masaka mu Buddu ku Mmande era wano n’ Amyuka Cansala wa ssettendekero ono Prof. Vincent Kakemba atuuziddwa neyeeyama okuggusa omulimu ogumuweereddwa.

Bw’abadde atikkira abayizi bano, Cansala wa Muteesa I Royal University, Omulamuzi Julia Ssebutinde, ayozaayozezza abamazeeko emisomo gyabwe nategeeza nti okutikkirwa kaseera kalungi akakujjukiza amaanyi, amagezi n’ebiseera byotadde mu kusoma naye bakulembeze obukugu bwebafunye okugasa ensi.

Omulamuzi Ssebutinde bano abalabudde ku bbula ly’ emirimu naabasaba bwebasanga okusomoozebwa okukozesa obuyiiya batandikewo obulimu obutonotono wabula nga tebeerabidde kukozesa tekinologiya basobole okwanguyirwa mu byebanaakola.

Ono abasabye okukuuma ekitiibwa ky’ ettendekero lino nga beewala okwenyigira mu buli bwenguzi obufumbekedde mu bitongole eby’enjawulo era basitukiremu okulwanyisa omuze guno.

Omugenyi omukulu era Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde ku mukolo guno naakakasa nti Ssetendekero ono emitendera gwaliko gwansi yonna nasaba abamukulira okwolesa obukugu era neyeeyama nti Obwakabaka bwakubawa obuyambi bwonna bwebetaaga.

Owek. Mayiga asabye abakulira Ssettendekero wa Muteesa I okusoosowaza ebyobulimi nasaba abayizi ku okukulemberamu enteekateeka n’okutumbula eby’ebyobulimi nga abakozesa Tekinologiya ne Saayansi.

Mukuumadammula akalaatidde abavubuka okufaayo basome era bateekereteekere bulungi obulamu bwabwe obw’omu maaso kubanga obutasoma buluna bukulu.

Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa Ssettendekero wa Muteesa I Royal, Dr. Mary Gorreti Nakabugo alambuludde ebituukiddwako omwaka 2024 era neyeeyama okwongera obukugu mu mpeereza za Muteesa I.

Ye Minisita w’ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko ategezeza nti Ssaabasajja Kabaka ayogende amanyi mukutumbula ebyenjigiriza okutandikira ddala ku mitendera gwa Nursery naasaba abazadde okukozesa emikisa gino.

Abayizi abasukkulumye ku bannabwe baweereddwa ebirabo era waliwo abasomesa n’abaweereza ab’enjawulo abasiimiddwa.

Omukolo guno gwetabiddwako ,Abataka Abakulu ab’ Obusolya nga bakulembeddwamu omukubiriza w’Olukiiko lwabwe, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Minisita Noah Kiyimba, Abakungu n’abantu ab’enjawulo.

Share this:

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top