Entiisa ebuutikidde abantu b’e Kasese ettaka bwerizeemu okubumbulukuka neritta abantu 8 ate nga abawerako tebamanyiddwako mayitire.
Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole ekiduukirize ki Uganda Redcross Society, Irene Nakasiita, enjega eno yagudde ku kyalo Kasiki, mu ggombolola ye Rukoki mu kiro ekyakeesezza Olw’okusatu ku ssaawa nga 10 nga bukya nga bangi basangiddwa beebase.
Nakasiita agamba nti kino kyavudde ku nkuba eyatonnye ennyo ekiro era bakyasobodde kufunako emirambo 8 ate abantu 6 bafunye ebisago ebyamanyi era batwaliddwa mu ddwaliro lya St. Paul’s Hospital mu munisipaali ye Kasese okusobola okujjanjabwa.
Ono agamba nti abantu bangi bakyabuze wadde ttiimu yabwe ekola buli kisoboka okuyambako ab’obuyinza mu kitundu kino okusobola okubazuula.
Nakasiita alabudde nga obubenje ekika kino bwebugenda okweyongera kuba enkuba eyamaanyi esuubirwa okutonnya omwezi guno gwonna okwetoloola eggwanga.
Obubumbulukuka kw’ettaka kuzze kutawaanya abantu abawangaalira mu kitundu kino emyaka egiwerako buli sizoni y’enkuba lwetuuka era bangi baluguzeemu obulamu.
Ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde mu ggwanga, ki Uganda National Meteorological Authority babadde bakamala okulabula abantu abaliraanye olusozi Rwenzori okuli disitulikiti ye Kasese, Bundibugyo, Ntoroko, Kabarole ne Bunyangabu okwetegula ebitundu bino kuba enkuba egenda kubeera nnyingi ekiyinza okuteeka obulamu bwabwe mu matigga.