Amawulire

Abaaliko abakozi mu kkolero lya Nyanza batadde gavumenti ku nninga okubasasula akisiimo kaabwe

Abaali abakozi ba kampuni ya gavumenti enkozi y’engoye eya Nyanza Textile Industries Ltd emanyiddwa nga Nytil esangibwa e Jinja bagumbye ku kkooti enkulu e Jinja ne balaga obutali bumativu ku ngeri gavumenti gye bakandalirizza okubawa akasiimo kaabwe.

Bakedde ku kkooti eno, okusisinkana omulamuzi Eva. K. Luswata ali mitambo gy’omusango gwabwe okubabuulira wa Ssaabawolereza wa gavumenti watuuse ku nsonga zaabwe ez’okubawa akasiimo kaabwe.

Bano baategeezezza nga bwe beewubye mu kkooti eno kati emyaka gisoba mu 20 nga n’abamu ku bannaabwe baatuuka n’okufa wabula nga n’okutuusa kati tewali kalungi ke baali bafunye kuva mu kkooti ne balabula nti singa ensonga yaabwe tekolebwako baakuva mu mbeera.

Wakati w’omwaka gwa 1990 -1995 kampuni ya Nyanza yasala ku bakozi abasoba mu 3000 bweyali tenaggalwawo era bwe batyo kwe kusalawo okuddukira mu kkooti mu kiseera ekyo nga baagala gavumenti ebaliyirire obuwumbi obusoba musanvu mu kiseera ekyo, wabula eyali Ssaabawolereza wa gavumentiu mu kiseera ekyo Peter Nyombi n’abasaba omusango guno baguggyeyo bateese wabweru wa kkooti.

Abamu betwogeddeko nabo batubuulidde embeera gye bayitamu mu kiseera kino nga n’ensimbi ezibatambuza okubaleeta mu kkooti zibaweddeko.

Ye omulangira Francis Ssenabulya Walugembe agamba nti abamu ku bannaabwe tebalina na kya kulya nga n’ennyumba baazibagobamu, bano era bakukkulumidde omuwaabi wa gavumenti okubabuzaabuza buli kadde n’ategeeza nti singa ensonga zaabwe tezikolebwako baggya kukolawo akatiisa.

Ono asabye omukulembeze w’eggwanga ne bekikwatako okutunula mu nsonga zaabwe kuba bano baakola kinene nnyo okuyimirizaawo eggwanga.

Era wano omulamuzi wa kkooti enkulu e Jinja Eva. K. Luswata awadde  Ssaabawolereza wa gavumenti ssalessale wa 13/7/2021 okuba ng’emaze okuwaayo alipoota ekwata ku kusasula akasiimo ka baali abakozi ba kampuni ya Nyanza Textile Industries Ltd emanyiddwa nga Nytil mu kkooti.

Omulamuzi Luswata agambye nti singa alipoota eno eneebeera ewedde y’akuyamba enjuyi zombi okubalugamya era bwenaabeera emaliriziddwa kigenda kuyamba enzuyi zombi okutuula babeeko byebakkanyaako ssaako naye okuwa ensala ye nti naye singa enjuyi zombi zinaagaana okukwatagana wakugenda mu maaso n’okuwulira omusango guno abaali abakozi gwe baateekayo.

Masero Omondi Nanyabo nga ye puliida wa bawambi ataayagadde kulabikira ku kamera zaffe oluvannyuma lwa kkooti ategeezezza nga bwawaddeyo alipoota ebadde erudde ng’erindirirwa okuva ew’omubalirizi wa gavumenti nga bategeezeddwa nga bweyawedde era nga yasindikiddwa ku kitongole kya NSSF okwekkeneenya okulaba oba ebyo abakozi bye baasaba bikwatagana era nga kino kyakutwala ssabbiiti bbiri.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top