Omukwano gunyuma era abantu bangi be mulaba nga bagezze, kitera kuva ku nkolagana oli gyalina n’omuntu we.
Laavu bwebeera ku ntikko buli Kintu kibeera kisoboka.
Osanga omuwala ng’adduse mu bazadde ate ku myaka emimpi ng’agenze n’omulenziwe.
Omulala poliisi n’ekwata omulenziwe naye nalemera ku poliisi nga agamba nti naye wakiri bamuggalire.
N’osanga omukazi omufumbo nga kumpi omusiguze amusudde eddalu takyamanyi bya bba wabula awaana musiguze era omusanga afumba nkoko ng’alimbye bba nti nnyina mulwadde gwagitwalira mu ddwaliro kumbe atwalira musiguze oyo gwayagala okusinga taata w’abaana.
Ggwe omusomi wange oyinza obutasooka kumanya kiki kino kwe kiyinza okuva naye kiva kukuba nga munno yakutuuka ku nnamba oba awo ewasinga okuwooma ku ggwe oba webatukuuka n’ogwa eddalu.
Bwabeera musajja yooyo gw’osanga nga agabye mmotoka oba ennyumba oba ekintu kyotayinza kukkiriza nga bizinensi enene oba obutitimbe bwa ssente.
Kyangu nnyo ate kizibu okumanya munno yenna naye buli mukazi oba omusajja mu nsi alina akafo oba awantu w’osobola okumukwata nga muli mu laavu n’awunga, okuboyaana, oba okubeera ng’ali muggulu era abasinga wano webamalira oba okufuyiwa amazzi ku ludda lw’abakazi ne bwaba nga bulijjo amanyi nti tagalina nga Nabukalu.
Abakazi bangi bw’obatuuka awo ne bwaba bulijjo akugamba nti awatali kondomu takukombya kw’olwo akugamba nti byonna biri mu ngalozo oba oyagala kapiira, oba alaali, ggwe amanyi.
N’olwekyo kikulu ggwe omukazi ali mu laavu naawe omusajja okumanya, ekissa munno mu muudu n’okikola.
Mukwate mpolampola bw’oba nga ddala wayiga laavu n’okunoonya munno.
Bw’oba omwegendereza tojja kulwawo kumanya wali swiiki ya munno oba bw’oba olemeddwa kubira oba wandiikira omukwanaganya wa ssenga n’amaka akuluŋŋanye olwo laavu ekunyumire.