Ettendekero ly’abasawo erya St. Francis school of Health Sciences litikkidde abasawo 256 nga ku bano abayizi 6 bafunye zi awaadi oluvannyuma lw’okunywa mu bannaabwe akendo. Bano babakuutidde okukozesa obukugu bwe bafunye mu ssomero bagende bajanjabe abantu awatali kwekkiriranya.
Akulembeddemu amatikkira gano Bishop Matiya Ssekamanya akuutidde abasawo abatikkiddwa okwolesa omutindo gw’ekisawo omulungi nga baweereza abantu mu bwesimbu nga beewala okubeera abakambwe eri abalwadde be bajanjaba.
Omukolo guno gwetabiddwako akulira ektongole ekirondoola omutindo gw’abasawo mu ggwanga Muzige Bruhani eyennyamide olw’omutindo gw’ennyambala y’abasawo ogugudde nga kati bangi ku basawo bambala bubi nnyo ekyesittaza abalwadde be bajanjaba. Ono asabye abasawo abatikkiddwa obutalowooleza ku mulimu gumu olw’ebbula ly’emirimu erisoomooza eggwanga.
Ye akulira ettendekero lino Bossa K. Peter ategeezezza nga bwe basoomoozeddwa omuggalo ng’abayizi babadde tebasobola kufuna budde bumala mu malwaliro gye babasindika okuyiga.