Tekinologiya

MTN Uganda mu pulomosoni ya YOTV, ya kugaba ebirabo

MTN Uganda mu pulomosoni ya YOTV, ya kugaba ebirabo

MTN Uganda etongozza pulomosoni ey’okugabira abakozesa omukutu gwa YOTV ebirabo ebiwerako buli lwe bagukozesa mu ssaawa, olunaku, wiiki oba buli mwezi.

Omukutu guno oguliko kyano ezisoba mu 50, era nga gwakolebwa Albayan Media Limited nga gukozesebwa ku masimu agaseereza (iOS and Android) ogusobozesa abaguliko okutega TV oba Radiyo ku masimu gaabwe. Omukutu guno oguliko ebintu ebisanyusa okulaba, gusobozesa abagukozesa okuwummuzaamu ku pulogulaamu eba eragibwa, okugizza emabega oba okugirikoodinga n’ogiraba oluvannyuma, okumala essaawa 24.

Omukungu wa MTN era omukugu mu bya tekinologiya owa Digito Mavis Ndagire Musungu bwe yabadde ayogera ku mukolo gw’okutongoza pulomosoni eno wano mu Kampala, yagambye nti pulomosoni eno ya kukoma nga 31 mu Gatonnya wa 2022.

“Mu pulomosoni eno, tujja kuba n’abawanguzi 30 buli mwezi abanaafunanga ebirabo omuli akapapula akaliko ebintu ebiguliddwa mu maduuka n’ebirabo ebirala. Ba kkasitoma abalina essuubi ly’okuwangula, beebo bokka abanaaba bakozesa omukutu guno ogwa YOTV mu miteeko egyenjawulo. Mu miteeko gino mulimu essaawa emu nga ya siringi 500, olunaku lwa siringi 1,000 oba wiiki ya 2,500 ng’ate omwezi gwa 10,000. Emiteeko gino gyonna kuliko ne data nga kkasitoma teyeetaaga data okunyumirwa” bwatyo Musungu bweyategeezezza Ssekanolya.

Era ono yagambye nti pulomosoni ya kiseera era eja kwongerwamu ebinonoggo nga eneetera okufundikirwa. “Nga tuyita mu pulomosoni eno, MTN Uganda eja kuwa ba kkasitoma baayo ebirabo by’amazaalibwa nga bukyali, okubasiima okutuwagira omwaka gwonna nga ebirabo bino bya kuyita ku mu pulomosoni eno eya YOTV ekozesebwa ku masimu,” bwatyo Musungu bweyagambye.

 Okukozesa app eno.

  • Genda awawanulirwa (app store) ku ssimuyo eya seereza (Android or iOS), owanule app ya YOTV
  • Yingizaamu ennamba y’essimuyo eya MTN osobole okwewandiisa.
  • Ojja kufuna Pini ku ssimuyo gyokozesezza okwewandiisa.
  • Yingizaamu pini osobole okumaliriza.
  • Awo, oja kufuna ennaku 30 ez’obwereere okulaba kyano ku bwerere ku YOTV nga ne data kwali.
  • Nga ennaku 30 ziweddeko, olwo ojja kulondako omuteeko gw’oyagala okukozesa.

Emiteeko

Omuteeko nga kuliko ne data Ssente ezisasulwa(UGX)
Essaawa 500
Olunaku 1,000
Wiiki 2,500
Omwezi 10,000

Wetegereze: Okusasulira okuteeko gwo, kukolebwa ku Mobile Money kwokka.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top