Abakkiriza wansi w’enizikiriza ya United Methodist Church banyiivu olwa bishop waabwe atwala ekitundu kya East Africa, Daniel Wandabula ne mukaziwe Betty Wandabula okukwata ekyapa okuli essomero n’ettendekero ly’abaweereza mu kkanisa eno n’akisinga mu bbanka.
Bano bagamba nti mu kiseera kino ng’amasomero gaggulwawo nga January 10, ddyo essomero lyabwe erya Mukono 5 Stars Primary School nga lisomerwamu abayizi abanaku abasasulirwa Abazungu okuva mu nsi z’ebweru teriggulwangawo nga n’entabwe eva ku kuba nti bbanka yalitunda ba Wandabula bwe baalemererwa okusasula ensimbi obukadde 221 ze beewola.
Mu kiseera kino, essomero lino eryateekebwa ku katale ekitongole ky’eby’ensimbi ekya gavumenti ekya Microfinance Support Center lyagulibwa Robert Kasozi nga ne mu kiseera kino likuubibwa butiribiri abasirikale aba securiko ababagalidde emmundu nga bbyo ebibiina ne woofiisi biriko kkufulu.
Rev. Toko Manase agamba nti ettaka lino lya kkanisa ya United Methodist nga beewuunya omuntu obuntu bwe yatuuka okulisinga mu bbanga n’ajjayo ensimbi nga tafunye lukusa okuva mu bavunaanyizibwa.
Rev. Isaac Kyambadde nga musumba atwala ekkanisa ya United Methodist okuva e Jinja agambye nti ekifo ekyatundibwa kibadde kiriko essomero lya pulayimale n’ettendekero ly’abaweereza erya Bible College.
Stephen Innocent Bwire omusomesa ku ssomeor lino annyonnyodde ebikwata ku ssomero n’agamba nti bbanka yagenda okulitunda nga Bishop Wandabula amaze okusasulayo ensimbi obukadde 66.
N’abamu ku bazadde nabo boogedde nga basaba gavumenti ebayambe essomero lyabbwe liggulwewo.
Berinda Atim nga ye mwogezi wa Microfinance Support Center gwe tufunye ku lukomo lw’essimu annyonnyodde n’agamba nti ba Wandabula beewola ensimbi obukadde 221mu mwaka gwa 2018 nga zaali za kulunda nkoko kyokka ne bagaana okuzizzaayo.
Atim agambye nti bbanka teyalina kyakukola kyonna okuleka okutunda omusungo gwe bawaayo basobole okujjayo ensimbi za bbanka ze baabawa.
Ye Bishop Wandabula bwe twamutuukiridde yagaanye okubaako ky’ayogera n’agamba nti ba looya baamugaanye okwogera eri ab’amawulire kuba ensonga zino ziri mu kkooti