Ebyentambula

Ebiri mu ddiiru egoba takisi ne boda boda mu Kibuga

Ebiri mu ddiiru egoba takisi ne boda boda mu Kibuga

Abakulembeze ba boda boda ne takisi batabukidde  nebasaba gavumenti  esooke abafunire ebitundu gyebagenda okukolera nga tenaba kuleeta kiragiro kibagoba mu Kampala kubanga okumala gabagoba kigenda  kwongera obumenyi bwa mateeka mu gwanga bangi ababadde beyiyizza mu ggwanga bagyakuba tebalina mirimu

Kino kidiridde gavumenti okuvaayo negamba nti egenda kuwera okuyingiza boda boda mu ggwanga ate nabo abakola omulimu guno bagenda kuganibwa obutaddamu kuyingira mu kibuga okutekerateekara ekibuga Kampala okufuuka Smart City. Minisita omubeezi ow’ebyobusubuzi Harriet Ntabazi yavuddeyo nagamba nti gavumenti egenda kukendeeza ku piki piki za boda eziyingira mu ggwanga  , bino webigidde nga KCCA eri mu kawefube w’okukendeza omugoteko mu kibuga omuli okugoba abatembeyi , okugya takisi ezitikkira mu ku nguudo zonna nezisindikibwa mu paaka.

minisita omubeezi owa Kampala   Christopher Kabuye Kyofa togabye agambye nti KCCA yagobye abatembeyi  ku nguudo   okumalawo omujjuzo mu Kibuga  okugyayo ekifaananyi kya Kampala Smart City eletwbwa Kampala afananeko nga ebibuga ebilala ebikulakukanye

Kabuye agambye nti balina byebatuuseeko wakati wa gavuemnti na bakulembeze ba boda boda era bataddewo obukwakulizo buli wa boda bwebalina okutukirizza nga ekiseera ky’okusindikirizibwa okuva munKibuga nga tekinatuuka mu June omwaka guno.bafune ne layisinsi ebakakasa  okukola omulimu gwa boda webanamala okukola bino enkalala zabwe bazisindike  mu minisitule y’obutebekenvu gavumenti etegeere  omuwendo gwa boda boda oguli mu Kampala balabe engeri gyebagenda okuzigoba mu Kampala nengeri gyezinakolera mu bitundu gyezigenda okusindikibwa.

Ayongeddeko nti mu Kampala temugenda kusigala siteegi yonna  eya boda zirina kukoma mu bitundu gyezihenda okwewandiisizza aye ne Bus zinatera okutandika ekitegeza nti ne takisi nazo ziri.mu lusuuno abazikoleramu batandike okwetegera embeera yabwe

Bosco Buziba agambye nti bagala gavumentinesooke ebatekeretekere gyebagenda naye wetakikla wagenda kuneerawo okutalo kubanga tebagenda kuva mu Kampala kubanga omukimubgwa boda boda gavumenti egutwala nga ekitagas.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top