Abakazi abeetunda ekintu baalitadde ku levo ndala okulaba nti bamansa ebintu mu basajja ate tebagoba ssente. Oluvanyuma lwokugyawo etteeka LY’OBWENZI bamalaaya bongedde okutaama okulaba nti bakola kiro namisana era waliwo abakazi bangi abaabadde mu bufumbo abeegasse ku bwamalaaya gattako abawala abato omuli nabaana bwamasomero.
Okunoonyereza okwakoleddwa poliisi nekibiina ekirwanirira eddembe lyabakyala mu Kampala kwazudde nti ekyongedde okwonoona ebintu bwebukampuni obugunjiddwawo abantu abagezi gezi okutunda abakazi nabawala abato mu gasajja okubeekako.
Kigambibwa nti obukampuni buno obusoba mu 17 bwefuula obunoonya abawala abato, nabakazi abakulu nti bunoonya kubakozesa mu kutimba ku mikolo oba okutunda ebyamaguzi wabula oluvanyuma babagamba nti waliwo nemikisa gyokufuna ssente ezamangu singa bakiriza okusanyusa abasajja mu Bya laavu.
Bano babakuba ebifanaanyi ebisikiriza bye bawereza abasajja ne beerobozaamu gw’e basiima gwebatumya olwo omukazi nafunako nowakkampuno nafunako.
Ensonda zaategeezezza nti ekibi mu bano mulimu nabaana bwamasomero abato ddala wadde nga n’abali mu matendekero agawaggulu mwebali.
Obukampuni buno era bukwatagana ne siteegi zabamalaaya e Kibuye, Makindye, Lubaga, Bwaise, Kaleerwe ne ntinda nti bano kyebeekola nkoko baana.
Bwebatabeera mu bukkampuni ate babeera ku siteegi zabwe ne loogi zebapangisa ngokunweggala batandikira ku 3000, 5000, 7000, 10000 nokweyongerayo okusinziira ku ndabika nekifo womugye oba wemwebaka nenamuziganya.
Omu ku bawala abasinga okwetunda e Makindye ku Mangereza , madina Namubiru yagambye nti okufanana bizinensi endala Kati ebbeeyi yakukaanya nti bwomusanga mu ” injury” wadde wa 15000 ku 7000 akuwa!
Yagambye nti ate abawala bamalaaya abamu ebyokulinda abasajja ku makubo ne bbaala babivuddeko nti Kati bayita mu bukkampuni.
Gyebuvuddeko abamu ku bamalaaya bategeezezza nti baabadde bavudde ku 3000b zebabadde basaba mu covid-19 nti kubanga embeera yatereera kasita bagyawo omuggalo.
Bano abasangiddwa get beetundira mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo okuli Kampala, Mukono, Masaka, Jinja, Mbale ne Ntebe bagambye nti bazeemu okuwanija bbeeyi yokwegadanga nga bagamba nti emiwendo gya covid tegikyakola.
Olwo Pulezidenti Museveni y’abadde yakagyawo omuggalo ku ggwanga lyonna.