Omusambwa Nabukalu nemizimu emikambwe gattako emmandwa ezibugiriza ekiggwa kyab’Olugave ekyasanyiziddwawo ku kifuba wiiki ewedde byegaludde.
Abamu ku batuuze ku byalo ebiriraanye ewasaliddwa omutti gwemisambwa namaanyi gwab’Olugave e Katende bategeezezza nti batandise okuwulira omusambwa omukazi ogukaaba Ekiro amatumbi budde nga gulaliika okwesasuza nga gusaddaaka abantu abasoba mu 3000 ku luguudo lwe Masaka nolupya oluvuddeko embuga yagwo okutemebwa.
” Nawulidde omusambwa nga gukaaba ekiro kyonna.obwedda bwegusirika olwo emizimu nga 20 ne giwunuuna nokutema obukule mungeri ekungula era kino Kati kimaze ennaku satu ne mulirwanawange akiwulira” bwatyo omu ku batuuze Nkungwa bwe yategeezezza.
Ate munne atayagadde kumwatuukiriza yagambye nti okuva omutti gwomusambwa lwe gwatemeddwa ekitundu kirina embeera etategeekeka gye kiyitamu omuli emisota egyeyongedde mu kitundu ,enswera namakonkome nga biringa ebibika.
Bino byonna bidiridde Abachina abazimba oluguudo olupya olwa Mpigi Express highway okukozesa ekifuba ne baleeta guleeda ezakuddeyo omutti gwomusambwa Nabukalu ogwabekik kyab’Olugave ogumaze emyaka 100.
Kalakita ezamaanyi zaamaze kumpi ssaawa mukaaga nga zittunkira ku mutti okutuusa lwezagusindudde.
Abekika kyolugave tebawereddwa mukisa kukola mikolo mitongole okukakanya emisambwa gyabwe nga bwekyabadde kirina okukolebwa oluvanyuma lwa Gavumenti ensonga okuzitwala mu kkooti.
Kyokka abamu ku batuuze bagamba nti balengedde Abachina nga bakola emikolo egyabadde ngegyokusamira mu Luchina nebamansa namalogo okwetoloola Nabukalu olwo ne balagira gukuulweyo.
Omutti guno ogusangibwa ku kyalo Mabuye okumpi ne Katende mu disitulikiti ye Mpigi era ng’Omugave Hussein Katamba y’abadde akulira embuga eno nokulembera emikolo gyabolugave egibadde gikolebwawo buli mwezi.
Ono yategeezezza nti ” oba Gavumenti ekozesezza ekifuba okusanyawo embuga eno ebisigadde tebatubuuzanga. Kyemanyi nti balitunoonya okutereeza embeera egenda okudda ko nga tebakyatulaba”
Ate mugandawe yagambye nti naye emisambwa agiwulira nga giralika okusenkenya abantu olwokwesasuza omuli nemirambo gyabanene egigenda okugwa.
Katamba yatutte Gavumenti mu kkooti enkulu e Mpigi ngayagala obukadde 500 okusengula emisambwa mu ddembe ngasooka gikolera mikolo gyagyo kyokka Gavumenti ngemuwa obukadde 150 zeyagaanye.
Oluguudo kukolebwa kkampuni ya China Civil Engineering Construction Corporation (CCECC) ne China Railway 19th Bureau Group Company Limited.
Kyokka mu kkooti enkulu Omulamuzi yagobye ebya Katamba okweramula nalagira UNRA okusasula obukadde 4 nemitwalo 60 gyokka Katamba nabolugave ne babuuka enswa era Abachina bakedde kusindula Nabukalu.
Okusooka minisita webyenguudo, Lt Gen Katumba Wamala yategeezezza Palamenti nti.omusambwa Nabukalu ogwasenga mu mutti gwabadde gubakutte entegetege namagulu kubanga gwabadde gwetaaga obukadde 500 ezitabaddewo.