Amawulire

OMULIRO GUSAANYIZZAAWO BYA BUKADDE MU GGARAGI E MBALE

Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde gwokeeza negusanyaawo amaduuka ga sipeeya we motoka omuli yingini, endabirwaamu, oyiro, ggiyabbokisi, emipiira ne bilala. Guno mulundi gwa kusatu mu bbanga lya myeezi 4 nga omuliro gwookya ggaragi eno era ate ku luno ebintu bingi ebisanyeewo okusingako ogwasooka wadde nga bonna baafiirwa ebintu ebibalilirwaamu bukadde na bukadde bwa nsimbi, ba makanika bategeezezza nti omuliro guno gutandise muttumbi ku ssaawa 9, era poliisi neyitibwa, wabula nga wetuukidde omuliro gubadde gumaze okutaama wadde egulwanyisizza neeguzikiza

Difensi wa ggaragi Muhammad Kyakulaga abambye nti omuliro nabo gubasobedde okwokyanga ebitundu ebisinga okubaamu ssippeeya owa ssente ennyingi, abasinga mu ggaragi muno mbasuubuzi ba ssipeeya era kino kibakwatirizza nga bali mu looni kati bagamba tebamanyi kya kuzzaako. Wabula bakukkulumidde abakulembeze emirundi esatu omuliro gye bwakabookya tewali mukulembeze yenna yali agenze kubalambulako bamukaabide ebizibu byaabwe.

Omwogezi wa poliisi mu nbitundu nbya Elgon ASP Rogers Tayitika yagambye nti poliisi ebadde ekyanonyereza ku kyaviirako emiliro ebiri ate newakwaata omulala, naye era okunonyereza kukyagenda mu maaso, naye ngakiteberezebwa nti kivudde ku masannyalaze.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top