Obunkenke bweyongedde mu basuubuzi olw’abantu abagambibwa okubeera ab’ebijambiya nabo abatandise okubateega nebabatematema nebabanyaga ensimbi zabwe.
Edward Ntale ssentebe w’e kibiina ky’abasuubuzi mu akeedi eya UTEA agambye nti waliwo ebibinja bya babbi abatambula n’ebiso n’obuyondo ababamazeeko emirembe babateega mu nkuubo z’ebizimbe ku makya nga bazze okukola n’ekiro nga banyuka nebabatema ebiso ku mitwe nebabanyagako ssente zabwe .
Abasuubuzi abasoba mu 9 bapooca n’ebiwundu mu malwaliro abalala bali waka tebakyasobola kugya kukola olw’obulumi bwebayitamu , abalala bizinensi bazigaddewo olwa ssente zebali bategese okwongera mu bizinensi okukula nga kati tebakyasobola kuddukanya bizinensi zabwe.
Abasuubuzi abalozeza ku bukambwe bwa bazigu okuli Moses Lwegaba banyonyodde nti abazigu babaza nga badayo awaka ne kumakya nga bazze okukola nebabetgera okumpi n’omwalo gwa Nakibuvubo nebabatambulirako emabega nebabakuba n’okubatema ebigambibwa okubeera ebijambiya n’obuyondo ku mutwe nebagwa wansi nebabanyaga nebamala nebadduka nga bolekera ebitundu okuli Katwe, ne n’oluudo lwa Namirembe ate nga babeera mu bibinja
Abasuubuzi abalala embeera eno bnagitadde ku bijambiya abatandise okutigomya ebitundu okuli Kyengera n’ebitundu ebirala nti kati bavudde mu kulumba abali munda mu mayumba kati bastandise kutigomya basuubuzii.
Kyoka embeera eno bagitadde kubamu abali abatembeyi abaali bakolera ku nguudo za Kampala bebagoba kyokka KCCA netabalaga wakukolera nti bano bandiba bebatandise okwefulira abasubuzi babanyage kubanga tebakyalina mulimu gwebakola .
Ntale awanjagidde ebitongole bya Securite okuvaayo batandike okukola ebikwekweto akawungezi ne kumakya ennyo kubanga obamenyi ba mateeka bwebudd mwebasinga okweyagaliramu naye wekinabalema abasuubuzi bangi bolekedde okufa ebijambiya n’okufiirwa emaali yabwe.