Kkoti enkulu e mukono esingisiza omugagga w’ emukono SSaababendobendo Willison Mukiibi Muzzanganda okwamuka ettaka lyabadde akayanira ne Haji Badr Kavulu kitaka omutuze w’e kateete mu ggombolola y’e kyampisi mu district y’e mukono nga lisangibwa ku plot 1990 block 149 Kateete kyaggwe. nga liwereaza ddala yiika 9.
kitaka ategezeza nga bwe yaddukira ku police e Nagalaggama nagulawo omusango nga 12/ nov/ 20202 ku faayiro namba 33/27/10/20/20 ref 29/25/ 10/ 2020 .
Wabula ono yalinga muzibe alingiza olwobutayambibwa bwatyo yaddukira ku police etwala kampala n’emirirano eyalagira police y’e Nagagalama okugyako ssengenge kyokka era yelemererrwa oluvanyuma lw’ omuddumizi wa police Grace Nangoma okutegeza nga ensonga bwezali zimususe.
Byonna okugana yasalawo okuddukira mu kkoti nagulawo emisango ebiiri omuli ogwokusaarimbira ku ttaka lye no’kumukakasa ku bwanayini namba 236/ 2020l, okumwonenera emmere, akuuba abaana n’omukyala namba 388/2020.
Oluvanyuma lwokuwuliriza obujjulizi obwaleteddwa omulamuzi yatyemudde nga Muzzanganda bweyesenza ku ttaka mu bukyamu bwetyo nemulagira okulyamuka mu bwangu ddala obutadamu kulinyako kigere.
mungeri yemu kkoti yalagidde muzzanganda aliyirire kitaka ensimbi zonna zaasasanyiza mu musango guno, woosomera bino ba pulidda ba kitaka bali mukubalirira nsimbi zebasasanyiza mu musango guno.
Wabula emisango omuli okwonona ebintu omuli emmmere nokukuba abantube gyakuwulirwa omwezi okugya.