Amawulire

MEEYA N’OMUBAKA WA NJERU BAGWANGANYE MU MALAKA, OMU ABIMBYE EJJOVU

Omubaka wa Njeru Municipality mu palamenti Jimmy Lwanga (NUP) ne Meeya Kyazze Yasin (NRM) bagwanganye mu bulago mu lukiiko lw’ekibuga Njeru olugendereddwamu  okutema empenda ku ngeri gy’ebayinza okutaasa etakka ly’ekibuga kyabwe erya yiika enkaaga eryaweebwa bamusigansimbi.

 

Olukiiko olubade olw’ebuggumu nga lukubirizidwa minister omubeezi mu ofiisi y’omumyuka w’omukulembeze we gwanga Diana Mutasingwa era lukubidwa ku ttakka erikaayanirwa nga lutandise na kusoma alipoota ya poliisi gye yakola oluvanyuma lwokuninyereza kwayo.

Olukiiiko okucankalana kivudde ku mubaka Jimmy Lwanga okululumiriza meeya wa Njeru okuba emabega wa vulugu ku buli takka lya gavumenti elisangibwa mu kibuga kino.

“Meeya okukolagana nabapunta ne mukuba etakka olwo bakansala ne mubawa omuwendo gwa yiika omufu olwo ezisigade ne muzitunza bamusiga nsimbi” Lwanga bwalumiriza.

Omubaka Lwanga era alumiriza Meeya ne town clerk we okuzimbanga pulojekiti za gavumenti ku takka lyamanyide dala nti silya munisipality era nga n’emisango mingi Njeru gyelina mu makooti ekintu ekifiliza gavumenti era wano omubbi twebuuza omubbi yani?

 

Mmeeya Kyazze Yasin talinze mubaka kumalayo n’amwambalira namugwa mu maraka okumutuga nga bamulangira okumuwayiriza n’obunafuusi kyoka ye yamufuula kyaali era bakansala wamu ne minisita Mutasingwa be bafubye okutawulura bano ababiri anti omu abade atandise okubimba ejjove wamu n’okumyuuka amaso.

 

“Hon. minister sijja kukiliza mubaka kumpayiriza wakiri ka mutuge anti ze yamufuula kyaali” Kyazze bwategezeza.

 

Oluvanyuma lwokukakanya embeera wmu nokutegeka obutebe obubadde bumansidwa olukiiko ne lweyongerayo maaso era nga bakansala balumiriza Meeya okuba omusaale mu kibba takka e Njeru kubanga vulugu akolebwa nga alaba era tewali weyeganira.

 

Minisita Diana Mutasingwa era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Buikwe yeevumye empisa abakulu bano bombi zeboolesezza mu lukiiko luno, nti era sikyabugunjufu abantu abakulu okulwanagana.

 

Mutasingwa era alabude abakulembeze ku kumpanya ebintu bya gavumenti nti byandibavilamu akabasa nabasaba okugendela ku bilayiro bye bakuba nga bajja mu buwereza.

 

Ettakka eryogerwako zili yiika 60 era nga Lya gavumenti, nga zaali zikozesebwa Henry Kyemba wabula liizi ye eye myaaka 50 bwe yagwaako bannakigwanyizi ne balitwala ekintu ekintu ekilesewo enkayana okuva mu bakulembeze nga buli omu asinga mu munne okulitunda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top