Omubaka wa Mukono Municipality Hon Betty Nambooze agambye nti tagenda kutiisibwatiisa kulabula kwa gavumenti okukwaa omuntu yenna analemera ku kwogera nti mu ggwanga lino mulimu ekiwa Bannabyabufuzi butwa ng’ebyayogeddwa kitaawe w’omugenzi Jacob Oulanyah abadde sipiika wa Palamenti gye buvuddeko.
“Nze Nambooze oba bankima bankime naye twagala okumanya baani abatuwa obutwa. Gavumenti mukifo ky’okutiisatiisa mbu ejja kutukwata yandibaddewo eteekawo akakiiko akenjawulo kuanga kituufu obutwawebuli mu ggwanga” Nambooze bwe yategeezezza ku mukolo ogwabaddeko n’Abasiraamu ea okukyasansansana ku mikutu.
Yagambye nti ye kenyini bwe baamukwata eyali DPC w’e Mukono Aurien yamukuba ebiyiso b’obutwa ea kyamwetaagisa abasawo abakugu okubunuunamu nga nakati essaawa yonna akeesa lukya nti ate n’eal omubaka Hajji HUsein Kyanjo ali ku ndiri naye akatwa bakamuwera Dubai.
Nambooze kwe kubuuza nti kati pulezidenti oba gavumenti bagaana batya abantu okwemulugunya ku butwa obugambibwa okuwebwa abantu.
Yagambye nti Aurien ekirungi gyali mu kkomera e Luzira batandikire ku ye nti ne Kyanjo osanga naye asobola okubaako byayogera ngamanyi ababumuwa nti okutiisa tekirina makulu.
Nambooze okuvaayo kidiridde bannabyabufuzi abawerako ne kitaawe w’omugenzo Oulanyah okulalikibwa poliisi nga bwegenda okubakwata banynyonyole ku byebasamwasamwa nabyo nti Oulanyah baamuwa butwa.
Muzeeyi Nathan Okiri kitaawe wa Olanyah yeeyasooka okutegeeza abamawulire nti omugenzi yamutegeeza nti baamuwa obutwa era bwe bumusse.
Ebigambo bino byatambula ng’oluyiira era bannabyabufuzi okuva mu Acholi ne bakula ejjembe kyokka pulezidenti Yowri Musveni nasinziira ku mulambo gwa Oulanyah e Kololo n’alabula nti bbo nga gavumenti bamanyi kyabasawo nti omugenzi yali afudde kansa.
Yalagira poliisi okukwata buli alokompoka n’obutwa abitebye.
Wabula mu kuziika Oulanya Okiri nabyasa buto ate oluyiira ne luddamu buto kyokka poliisi beyise okubitebya bawera nga ne Bobi Wine talutumidde mwana.
Ku lunaku lwokuziika, waaliwo obunkenke kibuyaga atabangawo mu Omoro bweyasitula weema omwali omulambo gwa Oulanyah ngemikolo gyomuziika gigenda mu maaso.
Ngembuyaga tenasituka obudde bwasooka kufuuka ebire ebiddugavu bwe byetimba obwengula bwa Acholi bwonna nebirekawo akatuli katono ddala abantu weebalengereranga ku njuba.
Wano abangu naddala abo abamanyi ebyafaayo bya Acholi webatandikira nabo okuwanuuza nti kirabika enfa yomugenzi y’alimu obwezigoolo.
Kigambibwa nti aba ffamile ya Oulanyah baludde nga bamanyi nti waliwo abagala omwana wabwe aveewo nti era bbo olwababikira ne batandika okukola emikolo gyobuwangwa omugenzi alulume era bakyalize gwgunagenda naye bwekutabe kuwonga nyo.
Nambooze weyatabukidde nga ne bannadiini omwabadde ne ssabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala Bishopu Paul Ssemwogerere nabo bakasaba gavumenti ekomye okutiisatiisa abantu nga beemlugunya nti byobutwa obugambibwa okugabibwa abalala wabula ezuule ekituufu.