Bya Drake Ssentongo
MUKONO
REV. Peter Bakaluba Mukasa ye sentebe wa disitulikiti y’e Mukono nga yaliko omubaka mu paliyamenti. Munnankyukakyuka ono bwomusanga ng’awatanya oyinza okulowooza nti mumeganyi olw’engeri gy’afungizaamu empale
.
Wano yasangiddwa mu makaage eg’e Namyooya mu Nakifuma ng’ava kutema bikajjo. “Mbasibiridde bikajjo biibyo babitutte mu bbaasi y’essomero,” bwatyo Bakaluba bwe yayogedde.
Ono abaddusi yabawadde bikajjo okufuna amaanyi. Bakaluba y’omu ku bakulembeze abawagira ebyemizannyo mu Mukono.