Bakansala basimbide ekuuli ekiteeso kyo okweyazika akakiiko okuva ewalala. Kino kyadiride bakansala okusimbira ekuuli okuyisa ekiteeso ekiriza disitulikiti eno okwewala akakiiko akabaga emirimu okuva mu distulikiti ezilinanyewo nga kino kyaletedwa ssentebe wa distulikiti eno Rev. Peter Bakaluba Mukasa.
Mulutuula okwaliwo nga 27 omwezi oguwedde ssentebe wa disitulikiti ye eMukono Bakaluba Mukasa yaleese ekiteeso mu kanso nga asaba bakansansala bakirize disitulikiti yeyazike akakiiko akabaga emirimu okuva mu distulikiti ezilinanyewo nga Buikwe oluvanyuma lwokulemererwa okulonda abakiise mukakiiko kano.
Okusinzira ku Bakaluba ategezezza kanso nti mukisera kino distulikiti eri mukaseera akazibu olwe ekiseera lye maze nga telina kakiiko kano kuba tebasobola okuyingiza abakozi bapya atenga waliwo office ezetagamu abakozi.
Ono agamba nti naye kimuluma nyo okuba nga disitulikiti telina kakiiko ate nga yalonda akakiiko bakansala nebakamugobya.
Bakansala bagamba kyansonyi nyo disitulikiti okwewala akakiiko nga esobola okulonda akaayo nti era bano gamba nti tebalina bumativu obanga akakiiko kanatunulira bana Mukono mukusaba emirimu
Wano CAO James Just a ategezezza nga bwatayiza ku okuyingiza bakozi nga talina kakiiko okusinziira kuteeka era nti eteeka oliwa obuyinza disitulikiti okweyazika akakiiko koona okuva mudisituliki ezilinanyewo singa waberawo bwetavu.
Kinajukirwa nti kuntandikwa ye ekisanjja kino Bakaluba yaleeta amanya ga abantu neyali alonzeokukulira akakiiko kano kyoka.bakansala nebagoba elinya lya Mwami Muguluma nga bagamba nti ono elinya lye lyaali lileteddwa mubukyamu
Okusinzira kuteeka, akakiiko kalondewa Ssentebe nga oleeta amanya ga abantu 3 nga omu kubo aba alondeddwa okuva mubibuga ebiri mu distulikiti Bakaluba kyeyakola nga Mwami Muguluma yali tasindikibwangako babibuga era bakansala nebamumugobya adeyo aleete elinya edala ekintu ekyanyiza Bakaluba amanya nagagyayo gonna yeyali aleese. Kyoka oluvanyuma abakulembeze babibuga balonda omuntu ate Bakaluba namugaana.
Wabula Bakaluba yategezezza nti ekimulemeseza okuleeta amanya abalala kwekuba nti abamu kubalondebwa kukakiiko bagenda nebamuwabira ku minisitule era nti tasobola kulonda nga minisitule tenasalawo kunsonga ezatwalibwayo.
Wabula kino tekyalobede bakansala kusimbira kuuli kiteso nga bagamba nti Kisoboka okufuna kanso eyekiseera nebafuna akakiiko era ekiteeso ne yiyibwa wakati mukusoberwa kwa ssentebe Bakaluba.
Kansala Kalinda alumiriza nti ekibalemeseza ensonga eno ye ssentebe ne sipiika nga singa bakwatagana ensonga esobola okunogerwa edagala akakiiko nekalondewa.
Kansala Mbonye Emmanuel omu kubakansala abalude mu kanso ya disitulikiti agamba nti kyakuomooza era kikwansa ensonyi okuba nga Mukono yeyazike akakiiko akabaga emirimu wano wasabidde ssentebe yetereze alonze akakiiko kano emirimu gisobole okutambula.
Singa disitulikiti esigala nga telina kakiiko kano, disitulikiti yandilemererwa okuwandisa abakozi nga ne ekiseera kino eddwaliro lya Mukono General Hosipital lyetaga okuwandisa abakozi.
Ensonga yajuride mukanso edako okulaba nga ssentebe oleeta amanya akakiiko alondebwe.