Minisita omubeezi ow’amazzi n’obutonde Aisha Ssekindi agumizza abantu be ab’e Kalungu b’akiikirira mu Palamenti naddala abalimi b’emmwaanyi nti tajja kubatiirira kw’ebyo ebibanyiga olw’okweyagaliza entebe gy’alimu.
Abyogedde ayanukula ebimusabiddwa ssentebe wa LCIII ow’e Lwabenge mu Kalungu David Balemeezi Ssegawa amutumye nti tabavaamu ne yekkiriranya n’abakukusa etteeka n’endagaano z’emmwanyi n’ebirala ebinyiga omuntu wabulijjo.
Ssekindi awabudde n’abantu ba Ssabasajja Kabaka obutetundako ttaka nti olwo ajja kuba takyalina ‘w’aggundaggundira n’abawa amagezi bakozese ettaka nga balimirako ebirivisaamu amagoba balye kw’ago.
Anafuyizza abeetundako ettaka nga beekwasa obwavu nti bwe bulibatunza n’abagamba nti bye batunda bwe biggwawo olwo tebafuukire ddala baavu lunkumpe so nga bwe bakozesa ettaka ne basimbako emisiri gy’emmwanyi n’ebirala balya ku makungula ne basigaza ettaka lyabwe.
Minisita Ssekindi amagezi gano agaweeredde mu kwabya lumbe lw’omugenzi Sepiria balemeezi Mugwanya e Wabikokooma,Ssemuto mu Luweero.
N’agamba nti omuze guno guli nnyo mu bamulekwa abatugumiikiriza bintu bakadde baabwe bye baleseewo ne babisaanyaawo mu kaseera katono so nga bwe babikozesereza awamu kibayamba okubyongerako.
Ku byobufuzi, Ssekindi avumiridde banne ababizannyira ku ludda lw’okwawulayawulamu abatuuze nga batondawo ebiwayi so ng’ekiseera kino kya kulwanira wamu mw’ebyo ebitwala ebitundu byabwe mu maaso.
Ssekindi akigumizza nti ye ebyobufuzi by’ebibinja yabireka mu 2021 ng’alibiddamu mu 2026 ng’obudde buno alina kutambulira wamu n’abakulembeze bonna abalondebwa okugatta amaanyi ag’okutuusa ku batuuze obuwereeza obuboongerako mu nkulaakulana.