Amawulire

Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi asiimiddwa abamerika n’engule

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukung’aanya omusaayi mu ggwanga lya Amerika ki International Divisions of America’s Blood Centre, kiwadde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, engule olw’okulwanirira obulamu bw’abantu nga ayita mu kubakunga n’okukung’aanya omusaayi mu masaza ge ag’enjawulo.

Engule eno ekwasiddwa Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala ku mukolo ogubadde mu ssaza lya Arizona mu Amerika eggulo ku Lwokusatu.

Omuk. Kaggwa Ndagala yasinzidde wano neyeebaza Ssaabasajja Kabaka olw’okuvaayo n’enteekateeka ez’enjawulo eziyambye okutumbula eby’obulamu mu Buganda ne Uganda.

Ono era asiimye bannamikago ab’enjawulo abayambyeko okuteeka ekiragiro kya Kabaka mu nkola era nawera nti Amasaza ga Nnyinimu gonna bakugatuukamu akadde konna.

Ate abaami ba Kabaka abakulembera abaganda mu kitundu kino ekya Arizona nga bakulembeddwamu Owek. Samuel Kalulu ne batendereza Beene olw’okubeera omukulembeze alumirirwa abantu be.

Mukiseera kino kawefube w’okugaba omusaayi yakatalaaga amasaza mukaaga okuli Kyadondo,Busiro,Kyagwe,Ssingo,Bulemeezi,Buddu era Yuniti z’omusaayi ezisoba mu 9 zakungaanyizibwa.
Okusobola okutumbula enteekateeka eno, Omutanda yasiima essaza eribeera lisinze okukung’aanya omusaayi buli mwaka okuweebwa ekirabo ky’eddwaliro awamu n’engabo.

Enteekateeka y’okugaba omusaayi ekyataaga amasaza gono agakola obwakabaka bwa buganda okutaasa abantu bakabaka abaffa olw’ebbula ly’omusayi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top