Ebyobulamu

Poliisi ekukunudde omuvubuka musiringi y’ennyumba eKaleerwe

Abadde atigomya ab’oku Kaleerwe bamukukunudde mu siringi  y’ennyumba gy’abadde yeekukumye ku misango gy’omumenya amayumba mu Kawempe abatuuze, abantu bamuwaddeko obujulizi nti y’omu ku bakulira ekibinja ky’eggaali ekitambula kibba abantu .

Wabula baganda be baakoze effujjo ku basirikale  ne batuuka n’okwagala okubayiira amazzi nga bagamba nti muganda waabwe embeera eri mu ggwanga ye  yamuviirako okubba.

Muhamad Kato amanyikiddwa nga Kapo abatuuze b’omu Ssebina zooni gwe baagambye nti bamukooye  olw’obubbi ng’amenya amayumba n’okuteega abantu n’abakuba n’amala n’akuulita n’omunyago ye yakwatiddwa Poliisi .

Kato Wakati Nga Bamunywezezza

Gye buvuddeko Kato alina enju y’omutuuze Faith Ainebyona (23)  gye yamenya n’abbamu ssente 450,000/ essimu bbiri , ensawo omwali ebintu ng’okumuzuula  emu ku ssimu  gye yabba balina gwe baagisanze nayo naye eyamulonkomye n’akwatibwa. Faith abadde yaggulawo omusango ku fayiro nnamba SD REF:18/31/05/2022.

Ku luno abatuuze olwamulaabye ng’ayingidde mu nju ya nnyina ne bamusibiramu ne bayita poliisi eyamukukunudde waggulu mu siringi.

Kato ku Idi ng’ali n’ekibinja kye baateeka emisanvu okumpi n’ekizimbe kya Zakaliya ne banyagulula abantu abasirikale baagenda okutuukawo  ne badduka.

Musa Ssemwanga yagambye nti  Kato alina ekibinja kinene ky’akola nakyo nga bateega abantu ku luguudo lwa Mawanda , Binaisa n’endala era batambula n’ebissi bye beeyambisa okumenya amayumba nga tebaliko budde n’emisana bakikola.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top