Minisita w’ Abavubuka, Eby’emizannyo n’ okwewummuzaamu mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu yasabye abantu bonna okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ezigendereddwamu okutumbula embeera zaabwe.
Owek. Ssekabembe bino yabyogeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde akwasa Aboogezi b’oku mikolo abeegattira mukibiina kyabwe ki, ‘Aboogezi b’oku mikolo United Association’ emijoozi gy’emisinde gya Kabaka egiwera kikumi mu kaweefube w’okuwagira enteekateeka eno.
Bano Minisita Ssekabembe yabasabye okutalaaga mu bantu ba Kabaka nga babaagazisa enteekateeka n’emirimu gyonna egikolebwa Obwakabaka kuba kimanyiddwa nti ku mikolo gyebakolera emirimu gyabwe bakung’aanya abantu abawerako era babawuliriramu.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe omulimu gw’okuzza Buganda ku ntikko buvunaanyizibwa bwa bantu ba Kabaka bennyini nga kino basobola okukikola nga bagula emijoozi nebeetaba mu misinde gy’omwaka guno ogwa 2022.
Ye Ssentebe w’ ekibiina kino Isma Kajja yategeezezza nti kibakakatako okuwulira ekiragiro kya Kabaka era neyeyama nti bakwongera okugondera enteekateeka zonna ez’Obwakabaka nokuzaagazisa abalala.
Ono yakoowodde aboogezi bokumikolo wansi wekibiina kyabwe abali eyo mu 1025 okubunyisa enjiri mu bantu bagule emijoozi nti eno yeemu kungeri gyebayinza okuddizaamu obwakabaka.
Emisinde gy’omulundi gigenda kuddukibwa wansi w’omulamwa, “Abaami tulwanyise Mukenenya tulwanyise abaana ab’obuwala.”
Era ku luno emisinde gigenda kukung’aanya abantu oluvannyuma lw’okumala emyaka 2 nga giddukibwa mu ngeri ya Ssaayansi era gyakubeerawo nga 3/07/2022 mu Lubiri e Mmengo era Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yasuubirwa okugisimbula.