Amawulire

Kkooti ejulirwamu yaragidde omusango oguwakanya obuwanguzi bwa minisita Nantaba guddemu okuwulirwa mu kkooti enkulu.

Abalamuzi ba Kkooti ejulirwamu mu Kampala balagidde omusango oguvunaanibwa omubaka Aidah Erios Nantaba okugulirira abalonzi awamu nobutabeera nabuyigirize bumala okufuuka omubaka wa Palamenti  guddemu okuwulirwa mu kkooti enkulu.

Kino kiddiridde Kansala w’eggombolola ya Nazigo, Ritah Nabadda eyali tavuganyizza mu kalulu kano, okutwala Nantaba mu kkooti  nga agamba nti ono yagulirira abalonzi  Kyokka kkooti enkulu e Mukono negugoba.

Kkooti enkulu e Mukono omusango guno yagugoba ng’egamba nti Nabadda teyalina mikono gyabalonzi 500 egyeetaagisa okuloopa omusango guno era nalagira Nabadda okuliyirira Nantaba wabula ono nasalawo okweyongerayo mu kkooti esingako nga ayitira mu bannamateeka be aba Okalang Law Chambers.

Ku Lwokuna abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakuliddwa Geoffrey Kiryabwire, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake basazizzaamu ensala ya kkooti enkulu e Mukono nebalagira omusango guno guddemu okuwulirwa.

Abalamuzi bagambye nti emikono gy’abalonzi Nabadda gyeyalina gyali gimala, wabula omulamuzi Olive Kazarwe nagugoba nga agamba nti ono yalemwa okuvunuulira abalonzi obujulizi bwebawa mu kkooti naye nga kino kyali tekisobola kugobya musango guno.

Kinajjukirwa nti Nantaba eyeesimbawo ku lulwe yawangula banne bwebaali bavuganya mu kalulu kano oluvannyuma lw’okufuna obululu 47,725.

Beyawangula kwaliko Harriet Nakwedde owa NUP nóbululu 37,117, Jackline Birungi Kobusingye teyalina kibiina yafuna obululu 10,202 Agatha Nalubwama owa NRM yafuna obululu 9, 237 ne Margaret Nabirye eyafuna 3,648.

Kyokka gwo omusango ogw’okubiri ogwali guvunaanwa Nantaba Jackline Kobusingye eyavuganya ne Nantaba kkooti ejulirwamu yagugobye.

Kobusingye yabadde alumiriza Nantaba okujingirira empapula z’ebyobuyigirize, kyokka obujulizi bweyaleeta abalamuzi bakizudde nti tebumatiza. Bwebatyo bakakasizza nti Nantaba ye Mubaka omukyala omulonde owa Disitulikiti  ye Kayunga.

Abalamuzi bagobye omusango nebalagira enjuuyi zombi, okwesasulira ensimbi zezisaasaanyirizza mu musango.

Wabula kino   tekyasanyusizza Nantaba ngágamba nti  asaasaanyizza sente nnyingi mu kupatana bannamateeka, nga  tekibakyabwenkanya  omuntu eyawaaba omusango ogutaliimu ggumba okumuleka obulesi.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top