Omulangira Felix Walugembe yasabye abantu ba Kabaka abawangaalira mu mutuba XI e Najjembe mu ssaza lye Kyaggwe okubeera abakozi basobole okwegobako obwavu era bafube okulwanyisa endwadde nga Mukenenya okusobola okwekulaakulanya.
Okusaba kuno Omulangira Walugembe yakukoze ng’atikkula Amakula abantu bano ku Lwokuna mu Lubiri e Mmengo mu kaweefube w’okuyimirizaawo embiri z’Omutanda nga zirimu eby’okulya.
“Mbakuutira era mbasaba okubeera abakozi kuba buli kimu kati bakiseera. Buli muntu wenna ky’okutteko kuba okulaba nti kivaamu ssente. Ewammwe musenza abantu bangi naye buli gwemusenza mumusabe abeeko kyakola okutwala Buganda mu maaso. Bannange tukole nnyo ate tusomese abaana,” Omulangira Walugembe bweyannyonnyodde.
Omulangira Walugembe bano yabasiimye olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Ssaabasajja Kabaka nga baleeta Amakula.
Yabasabye okubeera abasaale mu bitundu gyebabeera okulwanyisa akawuka ka Mukenenya nga babunyisa amawulire eri abantu ku kabi akali mukwegalabanja nabakyala oba nabasajja abangi awamu n’obulabe obuli mu kawuka ka Mukenenya.
Ye Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omukungu Moses Luutu yeebazizza bannakyaggwe olw’okutuukiriza enkola yokukiika embuga n’Amakula kyokka nabasaba okunyikira okulima emmere emala mu maka gabwe balwanyisa endwadde eziva ku ndya embi.
Omwami wa Kabaka atwala egombolola ya Mutuba II Najjembe, Ssaalongo Edward Musoke nga yakulembeddemu banakyaggwe bano yalaze okutya ku bantu abeesomye okusanyaawo obutonde bwensi era ekyokulabirako naawa e kya Mabira ekiweddewo nga kati kisigadde ku kkubo wokka.
Ate Amyuka Ssekiboobo ow’okubiri Omulangira Rashid Kanaakulya yasabye abantu ba Buganda okwagala ennyo Kabaka wabwe era bakyawe omuntu yenna agezaako okwang’anga Obwakabaka.
Bano baleese Amakula omubadde ebisolo, emmere awamu n’ebibala eby’enjawulo.