Ekibiina ki Forum for Democratic Change(FDC) kyawadde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni amagezi okulonda Gavana wa bbanka enkulu bwaba ayagala embeera y’ebyenfuna okutereera kuba kirabika ebizibu ebiri mu ggwanga birina akakwate ku nsonga eno.
Kino kiddiridde eyali Gavana, Prof. Tumusiime Mutebile okufa mu mwezi gwa January nga 23 era okuva olwo ekifo kino kibadde kikalu.
Amyuka Ssaabawandiisi wa FDC, Harold Kaija yagambye nti bali mukutya kuba kati emyezi giweze mukaaga nga eggwanga teririna Gavana ate nga tewali kabonero konna kalaga oba abakulu balina enteekateeka emunoonya amangu.
“Tuwa abakulembera eggwanga lino amagezi okujjuza ekifo kya Gavana kuba yasobola okugezaako okusalira ebizibu byetulimu amagezi nga ataasa okunaabuka kwa ssente yaffe,” Kaija bweyagambye nga ayogerako eri bannamawulire.
Kaija yategeezezza nti akaseera katuuse bannayuganda batandike okubanja gavumenti ensaasaanya ku bintu eby’enjawulo bweba tebaagala kubeera baddu mu nsi yabwe.
“Tetusobola kugenda mu mawanga gali yaddeyaddeko nga empisi zeziwooza akatale, buli kantu zikalidde. Tuli mu katyabaga ka byanfuna kyokka abo abatululembera tebafa ku bannansi okuggyako okwekkusa,” Kaija bweyalambuludde.
Okusinziira ku Kaija abo abali mu mitambo gy’eggwanga lino bafa ku kimu kuvuga mmotoka nnene nakusula mu nnyumba za bbeeyi awamu n’okutwala abaana babwe mu masomero agali ku mutendera gw’ebweru nga akazito tebakawulira.