Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, enkya ya leero atongozza olukiiko olugenda okuteekateeka emikolo egy’okujjukira Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II egy’omulundi ogwa 29.
Olukiiko lukulemberwa Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, n’amyukibwa Oweek. Joseph Kawuki. Abala abali ku lukiiko: Oweek. Noah Kiyimba, Omuwandiisi ow’Enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro, Omuk. David Ntege ne Major Stanley Musaazi.
Katikkiro agambye nti Amatikkira gajja kubeera mu Lubiri lw’e Mmengo, mu Ssaza ly’e Kyaddondo, ku Ssande nga 31 July, 2022, era nga emikolo gijja kutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Okugoba Mukenya mu Bizinga ne Buganda nga Abasajja be Basaale”.
Katikkiro annyonnyodde obukulu bw’Amatikkira ga Kabaka era n’alaga obuvo n’obuddo bwa Buganda. Agasseeko nti ba Kabaka ba Buganda babaako n’ekintu eky’enjawulo kye bakola ku mirembe gyabwe. Agambye nti Kabaka Mutebi azizzaawo ettuttumu lya Buganda nga ayita mu kulima emmwanyi n’okulwanyisa mukenenya.
Ayongeddeko nti Kabaka atukumyekumye okuzzaawo ennono, okubeera abalamu ate n’okukola obutaweera.
Yeebazizza Obuganda bwonna olw’okujjumbira emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka.
Amatikkira gawagirwa bannamukago aba Airtel era ku lwa kkampuni eno, Mw. Ali Baguywa, yeebazizza Obwakabaka olw’okubassaamu obwesige n’asuubiza okwongera okuwagira enteekateeka z’omukolo gw’Amatikkira awamu n’enteekateeka z’Obwakabaka endala.
Mu ngeri y’emu Bannassingo okuva mu kitundu ekye Kiboga ne Kyankwanzi wamu n’abakulembeze n’abavubuka okuva mu ssaza ly’e Butambala, baleese oluwalo lwa nsimbi 20,343,000/-
Katikkiro abeebazizza nnyo ate n’akubiriza abaami ba Kabaka okukola n’obumalirivu nga tebakuliriza bizibu.
Ye Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki, yeebaziza nnyo abaami olw’okuwagira ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka eky’okulwanyisa Mukenenya.
Akuutidde abantu bonna mu Buganda okutwala obubaka Katikkiro bwe yatutte mu bizinga obw’okulwanyisa mukenenya nga bwabwe bonna.
Asabye abantu obutaddiriza mu lutalo olw’okulwanyisa mukenenya.