Abakugu mu byenfuna baasabye gavumenti okugenda empola enteekateeka z’okuteeka mu kkampuni ya Roko Constructions Company ensimbi eziwera obuwumbi 202 okugitaasa mu katuubagiro k’ebyenfuna mwetubidde.
Kino kiddiridde Minisita omubeezi ow’ebyenfuna, Henry Musasizi okwanjulira Palamenti enteekateeka zino. Era kizuuse nti gavumenti era etegeka okugula emigabo ekitegeeza nti ejja kuvunaanyizibwa ku kunoonya ensimbi 130 kampuni eno bweyeetaga okutambula.
Abakugu baasabye gavumenti okusooka okubalirira kampuni eno obulungi bweba teyagala kuggwa nayo ng’emaze okugigulamu emigabo.
Omukugu Godber Tumushabe yategeezezza nti ebizuuliddwa biraga nti Roko yali ebanja gavumenti ya Uganda akawumbi 1 n’obukadde 800 ezaali ezokuzimba Uganda Cancer Institute kyokka nga zino nazo gavumenti yazisasula dda.
Tumushabe yategeezezza nti bingi ebiri emabega w’okugula emigabo 150,000.
“Obuwumbi 202 gavumenti zegenda okusasula okugula emigabo zigenda kusasulwa babadde bannanyini kampuni eno, ate olwo enoonye obuwumbi 130 ezigenda okutambuza kampuni eno,” Tumushabe bwey annyonnyodde.
Tumushabe yategezezza nti kikyamu gavumenti okulondobagamu beerina okuyamba awatali kufaayo ku byetaago bya ggwanga.
Ye Dr. Fred Muhumuza yategeezezza nti gavumenti etandise okwefukulula ku kyeyateekawo okuva ebyenfuna mu mikono gy’abantu ssekinoomu. Ono agattako nti ku mivuyo egiri munda mu kampuni eno talowooza nga gavumenti eneesobola okugisimattuka singa egula emigabo gino.
Kigambibwa nti gavumenti esuubira okukozesa erinnya kampuni eno lyerina okusobola okugikozesa awamu n’obumalirivu bwerina okusobola okugitwala mu maaso ekole ne ssente ezeegasa.
Yo kampuni eno yategeezezza nti erina kontulakiti zeegezaako okufuna nga ziweza Akasse kalamba n’obuwumbi 200 mu mafuta ne Ggaasi, okuzimba enguudo awamu n’ebyobulambuzi.
Kyokka emabegako bano, Kampuni ya Roofings Limited yabatwala mu kkooti ku bbanja ly’obuwumbi 2 bwebabanja .
Kitegeerekese nti Palamenti ensonga eno yagisindise mu kakiiko k’ebyenfuna okusobola okugyekaanya.