Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasekeredde amawanga g’abazungu naddala ag’omukago gwa ‘European Union’ agaagala akomya okukolagana ne Russia nga yategeezezza nti empalana ya bano, Uganda tegikwatako.
Okwogera bino, Museveni yabadde asisinkanye Minisita wa Russia ow’ensonga z’ebweru, Sergey Lavrov mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe.
Museveni yategeezezza nti Uganda yakusigala nga ekolagana ne ggwanga lyonna nga tafuddeyo ku ngeri gyelikolamu bintu byalyo.
Ono yannyonnyodde nti kibeera kikyamu Uganda okulondawo oludda ku lutalo lwa Ukraine ne Russia kuba ensonga ezibatta tezimanyi nga bwatyo tasobola kugaana kukolagana na Russia nga atya okunyiiza amawanga agamu.
“Tujja kwaniriza era tukolagane n’omuntu yenna kuba twagala okubeera mu mirembe n’amawanga gonna mu nsi. Tetwagala kuyingira mu bya mpalanirako kwekuba kufuna balabe, ffe tugenda okubenoonyeza nga Uganda,” Museveni bweyagasseeko.
Ku lutalo olugenda mu maaso mu Ukraine, Museveni yategeezezza nti kyebandisabye nga Uganda kwekulaba nti wabaawo okutegeeragana nga emirembe bwegibeerawo, Uganda efunamu ku njuyi zombi olwa Ukraine ne Russia.
Ye Minisita wa Russia, Sergey Lavrov yategeezezza nti beetegefu nga Russia okwongera okutumbula enkolagana ne Uganda nga kati batunuulidde okuyambako ku nkulaakulana ya Tekinologiya ne Saayansi awamu n’amaanyi ga Nukiriya.
Lavrov era mwenyamivu olw’envumbo ezaateekebwa ku Russia ekimu ku bintu ekyongedde okupaluusa ebbeeyi y’ebintu mu ggwanga.