Amawulire

Owek. Mayiga asabye ab’e Norway bayigirize abaana baabwe ennono

Katikkiro  Charles Peter Mayiga bw’abadde asiibula ab’e Norway ku kisaawe ky’e Oslo, Katikkiro yeebazizza nnyo abaakoze enteekateeka ey’okukyala kwe e Norway, etambudde obulungi, ate n’abantu naabeebaza olw’okugijjumbira ne bamwaniriza bulungi.

Asiimye nnyo enkolagana ennungi gye balina ne Bannayuganda bannabwe era n’abasaba bagikuume.

Owek. Mayiga asabye okwekolamu omulimu okulaba nga bayigiriza abaana baabwe ennono n’obuwangwa bwabwe byongere okubannyikiramu.

Ye Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, Oweek. Joseph Kawuki, eyatambudde ne Katikkiro ku lugendo luno, yeebazizza nnyo ab’e Norway olw’okwaniriza obulungi Katikkiro, ate n’okwekkiririzaamu nti basobolera ddala bulungi nnyo okuvuganya n’ebitundu ebirala ebirimu Abaganda abangi.

Baker Kabugo, eyakiikiridde Oweek. Nelson Mugenyi, Omwami wa Kabaka atwala ebitundu ebyo, yeebazizza nnyo Katikkiro olw’okukkiriza n’abalambula era n’akakasa nti ekibiina kyabwe mu Norway kigenda kweyongera amaanyi n’okunywera.

Saadi Kimera, akiikiridde Ssentebe w’Abaganda e Norway, Muky. Jessica Nantongo, naye yeebazizza nnyo Katikkiro olw’okubalambula, era ne yeebaza Katonda olw’okubakwatirako nebasobola okwaniriza Katikkiro obulungi.

Basuubizza okugoberera obubaka bwa Katikkiro bwe yabeetikkidde n’okuwanika bbeendera ya Buganda mu Norway kati Katikkiro ne ttiimu boolekedde Netherlands.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top