Twewale okuyita munsi nga tewali kalungi ke balitwogerako oba okutujjukirako. Leero tuli wano twebaza Katonda n’okujjukira ebirungi bye yakozesa mukadde waffe ono. Singa teyaleka kalungi konna munsi tetwandibadde wano leero”.Bwatyo Luwalira bwe yategeezezza.
Yabadde mu maka ga Ssekiwano e Gayaza mu kusaba kw’okwebaza n’okujjukira emirimu gye yakozesa omugenzi Merab Nasejje Ssekiwano okwakulembedde okumwabiza olumbe mu maka ga Bassekwano e Gayaza.
Yagaseeko nti ennaku ze tumala ku nsi Katonda yazigera tewali amanyi kiseera n’agamba nti twassibwako ensalo buli omu zaatayinza kusukka, buli omu alina okuba ne by’azikoleramu ebigasa baliraanwa be, ensi ye naye kennyini wamu n’abennyumba ye bisigale nga bigasa okumujjukira.
Oluvannyuma lw’okusaba yaganzise ekimuli ku malaalo g’omwami n’omukyala Sekiwano.