Amawulire

KITALO, Munowa asangiddwa ng’afiiridde mu mazzi.

Fabiano Munowa 24, ye yasangiddwa ku Lwokusatu kumakya ng’asibiddwa empingu ng’afiiridde mu mazzi oluvanyuma lw’abatuuze okumunoonyeza ennaku 3 okuva ku Ssande lwe yagenda okuvuba n’atakomawo.

Majid Tarenga, ssentebe w’abavubi LC I Kirinda zzooni yagambye nti Munowa ne banne abalala 2 okwali Juma Matovu ne Kirya baagenda akawungeezi ka Ssande okuvuba nga bakozesa eryato lyabwe eryasangibwa amagye agalwanyisa envuba embi ne bakwatibwa.

Tarenga agamba nti bwe yagenze okulaba Juma Matovu ku poliisi e Ntebe gye yatwalibwa yamunnyonnyodde nti Munowa mu kulwana nga bamukwata, yafuna ebisago eby’amaanyi ebyava mu kukubibwa ennyo n’oluvannyuma n’agwa mu mazzi mwe yasangiddwa ng’afudde.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, yagambye nti nga August 29, 2022 kigambibwa abaserikale abaali bakola ekikwekweto ku nvuba embi baakwata abavubi basatu omwali ne Fabiano Munowa eyabuuka mu lyato n’agwa mu mazzi ng’agezaako okudduka n’asangibwa ng’afiiiriddemu.

Wabula, poliisi ekyagenda mu maaso okunoonyereza ku mbeera eyamuviiriddeko okufa okwongera okumanya oba yali adduka oba nga waliwo ebirala ebyamukolebwako mu mbeera ng’akwatiddwa

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top