Abakulira ekitongole ki Kabaka Foundation basabye gavumenti eyawakati okutereeza eby’obulamu mu ggwanga kiyambeko okukyuusa endowooza z’abantu ku kugaba omusaayi.
Bino byogeddwa Ssenkulu w’ekitongole kino, Omuk. Eddy Kaggwa Ndagala bweyabadde akuliddemu okukung’aanya omusaayi mu ssaza lye Butambala mu ggombolola ya Musaale Budde.
“Uganda tukyalina ebizibu bingi naye ebitutawaanya tetunakola nguudo, tetunakola ki naye embalirira yaffe esinga obunene egende nnyo mu by’obulamu kuba abantu bwebanaaba abalamu n’enkulaakulana ejja kwanguwa,” Omuk. Ndagala bweyategeezezza.
Abantu bagijumbidde okuyambako ku bantu abagwetaaga nga enteekateeka eno ebadde ekulembeddwamu akulira ezikkiriza ya balokole mu Mpigi omusumba Godfrey kabugo akiikiriddwa Lwakatale Isaac.
Omusumba Lwakatale yebaziiza obwakabaka olw’okuwoma omutwe mu nteekateeka y’okugaba omusaayi era n’akubiriza abantu okugaba omusaayi n’okwagala olwo lwebanafuna nabo obuyambi bwebaliba batuuse okugwetaaga.
Akiikiridde Katambala Hajj Sulaiman Magala ye mumyuka wa Katambala Haji Lubega Manooti yategeezezza nti okugaba omusaayi kiba Kya bulungi bwabuli omu era n’asaba abantu okukitwala ng’e kikulu nnyo.
Omukungu okuva mu kitongole ki Red Cross, Sarah Muteegombwa, yeebazizza abantu ba Kabaka abajjumbidde enteekateeka eno era nawera okumalawo ekizibu kino nga akolera wamu ne Buganda.
Enteekateeka eno ekuliddwamu ekitongole ki Kabaka Foundation ne bannamikago okuli Uganda Red Cross Society awamu naba Uganda Blood Bank.