Omutaka Kannyana Daniel Kiwana asisinkanye Kalidinaali Emmanuel Wamala ne boogera ku nsonga z’ Ekika ez’enjawulo n’engeri gyebasobola okwekulaakulanya.
Ensisinkano eno eyindidde mu maka ga Kalidinaali e Nsambya mu Kampala ku Ssande.
Kinajjukirwa nti Kalidinaali Wamala y’e mukulu w’e Ssiga lya Kyabukasa mu Kika ky’ Engabi Ennyunga nga kati ayambibwako mwami Emmanuel Ssemaganda.
Bw’abadde awa obubaka bwe , Kalidinaali Wamala, agambye nti musanyufu nnyo olw’ebyo ebituukiddwaako mu Kika ky’ Engabi nga bwe byanjuddwa omwogezi w’ekika, Stephen Muyunga.
Yeebazizza nnyo abazzukulu bonna abawagidde enteekateeka z’Ekika ne kisobola okutuuka ku buwangizi obw’amaanyi.
Kalidinaali Wamala asabye bazzukulu ba Kannyana okwongera okuwaayo ku lw’ekika n’okwenyigira mu nteekateeka zonna ezinayamba okusitula Engabi Ennyunga.
Ye Katikkiro w’ Ekika kino, Dr. Abaasi Kabogo Mukyondwa ayanjulidde Kalidinaali Emmanuel Wamala Omwogezi era Omuwanika w’e Kika omuggya Omuk. Stephen Muyunga, ayadda mu bigere bya Richard Sserwagudde eyafa mu biseera ebya Ssenyiga Corona.
Omuk. Muyunga Stephen, yeebazizza Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala olw’okuweereza ekika kye awamu n’okuyamba ekika okuddamu okwetongola.
Amusabye ayongere okubawa amagezi n’okubawabula era asabire abazzukulu mu kika basobole okutambuza obulungi emirimu gy’ekika.
Muyunga ategeezezza nti ku buvunanyizibwa obwamukwasibwa ng’Omuwanika era Omwogezi w’ekika, basobodde okussa ekibumbe ky’ekika ku luguudo Kabakanjagala; baasasulira oluyimba lw’ekika era lukolebwako; baasobodde okwetaba mu mpaka z’omupiira gw’ebika ekyongedde amaanyi mu kika.
Okusinziira ku Muyunga balina enteekateeka okuwandiisa olukiiko lw’abayima; okufuna ekyapa n’okuzimba ekizimbe ku butaka bwabwe e Bwende; okutondawo woofiisi y’ Ekika mu Kampala ate n’okutandika ekittavvu.
Ku bugenyi buno, Omutaka Kannyana abadde awerekeddwako abakulembeze ab’enjawulo mu kika okuli; a Kyagulanyi Joseph ow’e Ssiga lya Namuyimba, Katikkiro w’ekika Dr. Abaasi Kabogo Mukyondwa, Omwogezi era Omuwanika w’ekika Omukungu Muyunga Stephen, Omuwandiisi w’ekika omukyala Nakachwa Flavia, amyuka omuwanika Nambi Rose Kaddu n’abalala.