Omubaka wa Kira Municipality Ssemuju Ibrahim Nganda ategeezezza nti tanafuna bukakafu nti ddala Mao agenda kumatiza Museveni gw’amanyi ayagala enyo obuyinza aweeyo entebe mu mirembe.
Ssemujju agambye nti ye amanyi era akkiriza nti Museveni mu State House balina kuggyamu mulambo ng’afudde ku ngeri gy’ayagala ennyo okufuga.
Ono ategeezezza nti bo ng’abali ku ludda oluvuganya bagenda kukola kyonna ekisoboka nga bateeka akazito ku Museveni aweeyo obuyinza.Ssemujju alumiriza nti Lt.Gen Muhoozi oba maama Janet Museveni minisita w’ebyenjigiriza ne bamala bagezaako okulangirira nti bagenda kwesimba ku bwapulezidenti Museveni abasiba mu kkomera.
Ono ategeezezza nti bwe kituuka ku ntebe Museveni talina gwe yeesiga, buli muntu amulimba bulimbi nga bw’alimbye Mao.Ssemujju alaze nti Museveni yatandikira ku bantu be yava nabo mu nsiko nga John Partrick Amama Mbabazi eyaliko ssaabaminisita we n’amusuubiza entebe. Wabula ekiseera ky’okugimuwa bwe kyatuuka n’amwefuulira ng’amulimba nti akyali mu lutalo lwa kugatta mawanga ga East Africa nga tasobola kumuwa buyinza alindeko asooke atuukirize ekirooto kye ekyo.Eno y’ensonga lwaki Mbabazi yamwesimbako mu kalulu ka 2016.
Omubaka Theodra Ssekikubo ow’e Lwemiyaga yatubuulira nti pulezidenti Museveni ne bw’abeera yeebase n’awulira omuntu ayogera ku by’okuwaayo obuyinza azuukuka n’obusungu.Ono yategeeza nti Museveni yayita bannabyabufuzi abava mu kitundu kya Ankole okukubaganya ebirowoozo ku kyali kiviiriddeko abantu b’omukitundu ekyo okubakyawa ne bawagira Dr. Kizza Besgye, abateesa okwali maama Janet Kataha Museveni ,Dr.Chris Baryomunsi minisita w’amawulire ne basemba okubaako enkyukakyuka ezikolebwa mu bukulembeze bw’ekibiina .
Nti bwe kibeera kisoboka Museveni awummule, Museveni yalinga ayagala okusumagira, wabula olwawulira ku by’okuwummula n’azuukuka mu busungu n’abalagira okusirika okukomya okuteesa ku by’okuwummula n’oluliiko n’aluyimiriza.