Amawulire

Omukazi eyatulugunya omwana e Luweero asibiddwa mu kkomera emyezi 18.

Omukazi Dorothy Nabulime  eyasaasanira emikutu mikwanirawala ng’atuntuza omwana ow’emyaka 2, asibiddwa emyezi 18 mu nkomyo, lwakuyisa mwana ng’ekyokuttale.

Wiiki ewedde Nabulime yasimbibwa mu kkooti ento e Luweero naggulwako emisango egyokutuntuza n’okukuba ebbujje ly’azaala era nagikkiriza.

Wabula Nabulime yasaba kkooti emukendeereze ku kibonerezo nti omwana yamukuba lwa busungu kubanga tamanyi kitaawe mbu baamusobyako busobya n’obutaba na buyambi bwakumulabirira.

Ono yalaga kkooti nga bw’alina n’omwana omulala wa myezi 4 gwalina okulabirira era nga naye talina buyambi.

Bweyabadde amusalira ekibonerezo, Omulamuzi John Paul Obuya agambye nti wadde nga Nabulime yategeeza kkooti nti kino yakikola lwabusungu olwokusobezebwako omusajja gwatamanyi, nti wabula ekikolwa ate eky’otulugunyamu omwana kyali kikyamu.

Omulamuzi  yamusindise mu nkomyo agire nga yeebakayo emyezi 18, kimuwonye okutuusibwako obulabe okuva eri abantu abanyiivu olw’ekikolwa ky’okutulugunya omwana.

Muliraanwa wa Dorothy Nabulime yeyamukwata ku katambi ng’atulugunya omwana mu kitundu kye Busula mu Luweero.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top