Amawulire

Eby’enjigiriza bya Uganda okuterera ng’abazadde bavuddeyo okukwata munsawo – Omulabirizi Ssebaggala.

Abakulu b’amasomero agali musingi gw’eKKanisa mu Bulabirizi bw’eMukono kbasiibudde Omulabirizi Ssebaggala n’omukyala mubutongole nategeza nti eby’enjigiriza bya Uganda okuterera ng’abazadde bavuddeyo okukwata munsawo okusinga okubirekera kubanga ebintu by’obwereera tebitera kuba bya mugaaso.

Kinajjukirwa ennaku z’omwezi nga 19/9/2010, Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala n’Omukyala Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe lwebatuuzibwa mubutongole ng’abalabirizi b’eMukono ab’okunna era nga kati giweeze emyaka kumi n’ebiri (12) bw’eddu n’olwekyo olwa leero Omuwandiisi w’eby’enjigiriza mu Bulabirizi Rev Geoffrey Kagoye n’omukyala awamu n’abakulu b’amasomero abegatira mukibina kyabwe ekya Church of Uganda Heads of Insititution Association ( *COUHIEA* ) nga bano bade ku somero lya Bishop West Boarding and Primary School eMukono.

Omukolo guno gutandiise n’okusaba era nga Chaplain w’e Kitongole ky’eby’enjigiriza mu Bulabirizi era nga ye Ssaabadiikoni w’eSeeta yabuulidde mukusaba, Ven Canon David Mpagi akalatidde abakulu b’amasomero okufuba okukiriza okuteekawo enkyukakyuka okusinga okwogera n’okugoberera enkyukakyuka naddala mubintu eby’enjawulo.

Bw’abadde asiibula abakulu b’amasomero gano, Bishop Ssebaggala agamba nategeza nti eby’eby’enjigiriza bya Uganda okuterera ng’abazadde bavuddeyo okukwata munsawo okusinga okubirekera kubanga ebintu by’obwereera tebitera kuba bya mugaaso.

Ssentebe wa District y’eMukono ,Governor Hon Rev Dr Peter Bakaluba Mukasa asabye Gavumenti yakuno okwongera okufaayo ennyo kuby’enjigiriza mukwongera ssente muby’enjigiriza n’okusasula abasomesa omusala ogumala ate n’obutasosola ba Arts okusinga okuvaayo okutandiika okubagabira amata ate nga abazadde abamu balemereddwa okusasula obusente obutono .

Ye omukulu w’esomero lya Mukono Boarding Primary School, Suzan Wamala Sserunkuma nga yakulira abakulu b’amasomero agali mutendera gwa Pulaimale ategezeza nti bagya kujjukira nnyo Omulabirizi Ssebaggala kubanga abadde n’okwolesebwa mubuweereza obw’enjawulo naddala muby’enjigiriza omubadde n’okukulemberamu omulimu ogw’okusereka Synod Hall n’okukuza abakulu b’amasomero ag’enjawulo kumutendera gw’Obussaabadiikoni.

Omukolo guno gwetabiddwako Provost wa Lutiiko y’Omutukuvu Firipo ne Andereya e Mukono,The Very Rev Canon Enosi Kitto Kagodo,Omuwandiisi w’Obulabirizi Rev Canon John Ssebudde,Ba Ssaabadiikoni ,Abakulira ebitongole eby’enjawulo mu Bulabirizi,Abasumba,Ababuulizi,Abakulira eby’enjigiriza mu District ez’enjawulo omuli Mukono,Buikwe, Kayunga awamu ne Lugazi municipality,aba Bible Society Uganda,Abakulu b’amasomero okwetolola Obulabirizi n’ababezi baabwe bonna era nga bano bawadde Omulabirizi ne Maama Tezirah ebirabo eby’enjawulo omubadde ne ebintu byonna ebibeera mu Diiro y’awaka n’okusala Caki.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top