Amawulire

Abapoliisi bakubye omukazi amasasi e Wakiso

Poliisi e Wakiso ekutte basajja baayo babiri nebaggalira olw’okukuba omukazi amasasi bwebabadde mu kikwekweto.

Abakwate kuliko Erisa Muhumuza ne Evelyn Akello  nga bano bebamu ku b’ebyokwerinda abayambako aba  Uganda National Roads Authority (UNRA) okukwasisa amateeka mu disitulikiti eno.

Kyategeerekese nti abapoliisi bano babadde batambulira mu mmotoka kika kya Drone nnamba UBJ 885Q eyali yakwatibwa poliisi.

“Kigambibwa nti ku Lwokusatu nga September 28, ku ssaawa nga 10 ez’olweggulo, bano bagobye emmotoka ya Eria Twase era wakati nga bamugona bakubye amasasi agalumizza Violet Nansereko eyabadde ku bibye, ” Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano Luke Owoyesigire bwe yagambye.

Owoyesigire agamba nti Nansereko bamututte mu ddwaliro e Mulago asobole okujjanjabwa.

Ono akakasizza nti Muhumuza yeyakubye amasasi naye bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza okuzuula ekyamuwaliriza okufulumya amasasi gano.

Okusinziira ku poliisi emmundu egambibwa okukozesebwa mu kikolwa kino eri mu mikono gya poliisi ng’ ekizibiti nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top