Ab’enganda z’abawagizi b’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) abawerera ddala 32 amaziga gabayiseemu oluvannyuma lwa ssentebe wa kkooti eno omuggya Brig Gen Freeman Mugabe okugaana okusaba kwabwe okweyimirirwa.
Bano bamaze ebbanga lya mwaka mulamba n’ekitundu nga basibe wabula ab’enganda bagenze mu bungi ku kkooti nga basuubira abantu babwe okuyimbulwa.
Abasibe bano 32 nga bakulembedwamu Ssegujja Rashid bakwatibwa mu May w’omwaka oguwede ku bigambibwa nti basangibwa n’ebyokulwanyisa ekintu ekikontana n’amateeka agafuga kuno wadde ng’emisango bagyegaana.
Bano nga bayambibwako bannamateeka ba NUP baludde nga basaba okweyimirirwa wabula ebbanga eriyise eyali Ssentebe wa kkooti enom Lt Gen Andrew Guti yali yakugaana enfunda eziwerako.
Abakwate bano baleese ababeeyimirira okuviira ddala ku mikwano, enganda ne bannabyabufuzi naye byonna tebivuddemu kalungi.
Bw’ abadde awa ensala ye ku nsonga eno, ssentebe wa kkooti eno Brig Gen Freeman Mugabe agambye nti ensonga bano zebaawa nga baagala okweyimirirwa omuli; ebifo gyebabeera, ababeeyimirirwa n’okukakasa nti tebasobola kutaataaganya kunoonyereza okugenda mu maaso byazuuliddwako akabuuza nga bwatyo tasobola kubayimbula.
Ssentebe Mugabe bano abasabye okwetegekera okuwulira omusango gwabwe kuba gugenda kutandika akaseera konna.
Kino kitabudde ab’enganda nebakukulumira gavumenti nga bagiranga okusiba emisango ku bantu babwe nga ebalanga okuwagira Kyagulanyi.
Omu ku bannamateeka babasibe Benjamin Katana ategezezza nga bwebatamatidde n’ensalawo ya kkooti eno.
Katana agamba nti era kikyamu okutandika okuwozesa abantu babwe mu kkooti y’amagye kuba si bannamagye.