Katiikiro wa Buganda Munamateeka Charles Peter Mayiga asiimye emirimu egikoleddwa Omulabirizi Ssebaggala n’omukululo omulungi gw’alese mu Bulabirizi ate n’akabonero kalaze mu kwagala abantu aba Katonda kubanga omukulembeze yenna oteekwa okulekewo kyebalikujjukirirako ng’ovuddewo.
Ow’embuga Kamalabyonna mukuuma Ddamula aby’ogeredde Bulange Mmengo bw’abadde yeebaza Omulabirizi Ssebaggala olw’emirimu gyonna egikoleddwa mu Bulabirizi bw’eMukono n’okumusiibula mubutongole nga yeetekerateekera okuwumula emirimu gy’Obuweereza ng’Omulabirizi ng’ono abadde awerekeddwako Maama Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe awamu n’abamu kubaana abakulembeddwa Joy Nakimuli Rebecca Kiggundu ne Juliet Samali Nabagala Kisakye era bano basoose mukafubo akatakiriziddwamu abamawulire.
Bw’abadde ayogerako eri banamawulire oluvanyuma lw’okusiibula Omulabirizi Ssebaggala mubutongole n’okumwebaza ,Katiikiro Mayiga agamba nti enteekateeka nnungi ezitereddwawo ku Bulabirizi n’olwekyo omukulembeze omulungi alina okusanga ebisoomooza naye ate navunuka nakola ebyo abalala byebanasangawo ate ng’alina okwagala abo bakolamu emirimu.
Wabula ye Omulabirizi Ssebaggala yeebaziza nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw’okuwagira nnyo obuweereza bwa Katonda n’okwagala abantu be era neeyabaza Katiikiro olwa amanyi gatadde mukulima emmwanyi kubanga kaweefube ayambyeko abantu ba Kabaka ku nsimbi okusobola okweyimirizaawo era nga babadde kyakulabiraro ekirungi eri Obulabirizi naddala okwanganga eebizibu
Omukolo guno gwetabiddwako Ssaabawolereza wa Buganda ate nga ye Minista owa Gavumenti ezz’ebitundu Owek Christopher Bwanika awamu n’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule