Amawulire

Amasomero galagiddwa okukkiriza abayizi abatanamalayo bisale okukola ebigezo.

Minisitule y’ ebyenjigiriza mu ggwanga eragidde amasomero gonna okuli aga gavumenti nag’Obwannanyini okukkiriza abayizi abakyabanjibwa ebisale by’essomero okutuula ebibuuzo byabwe eby’akamalirizo.

Kino kibikuddwa minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza bya Pulayimale, Joyce Moriku Kaducu bweyabadde mu Palamenti nga ababaka bamubuuza webayimiridde ku nsonga ez’enjawulo.

Kaducu agamba nti enkulaakulana ya Tekinologiya n’ebyenfuna efudde amasomero amakambwe ennyo ku nsonga y’ebisale eri abayizi ababanjibwa nga bangi bandisubwa okukola ebibuuzo ebibatwala ku mutendera oguddako.

“Omuyizi bw’aba yewandiisa, ebivudde mu bibuuzo aba asobola okubirabira ku mutimbagano naye tukoze kaweefube okulaba nti abayizi ba P.7 ne S.6  bonna bakkirizibwa okutuula ebibuuzo si nsonga oba tebanamalayo fiizi,” Moriku bwe yannyonnyodde.

Kino kiddiridde omubaka wa Buhweju, Francis Mwijukye okutegeeza nga abayizi ba S.4 abawerako mu kitundu kye bwebagaaniddwa okutuula ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo olw’obutamalaayo bisale.

Mwijukye yategeezezza nti singa ensonga eno etuukawo ku bayizi ba S.6 ne P.7, abayizi bangi bagenda kufiirwa omukisa gwebabadde balinze okumala akabanga.

Wabula ono asabye abazadde n’abalabirira abaana bano okufuba okulaba nti bamalayo ebisale by’essomero nga ebibuuzo tebinatuuka.

Sipiika wa Palamenti, Anita Among yategeezezza nti eky’okugaana abayizi okutuula ebibuuzo kikyamu kuba omuntu tasobola kusomera myaka  7 oba 4  ate n’omugaana okukola ebibuuzo tebubeera bwenkanya.

Ye omubaka wa Munisipaali ye Bugiri, Asuman Basalirwa, yasabye gavumenti etandike okulowooza ku kyesobola okukolawo okukoma abayizi abali mu matendekero agawaggulu abagaanibwa okutuula ebibuuzo byabwe  buli lukya olw’okuba bakyabanjibwa ebisale.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top