Ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) kituula bufoofofo okulaba nti kiddamu okwegulira obuganzi mu Buganda awamu ne Busoga gyeyakyawangulwa ennyo ekibiina ki National Unity Platform.
Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong yategeezezza abakulira ekibiina mu Buganda ne Busoga ku Mmande bwebabadde basisinkanye e Nakasero e Kampala.
Bano basimbye essira kwebyo byebalowooza nti byebyabaviirako okufiirwa obuwagizi bwebalina mu bitundu bino.
“Era tuzze wano okuyiga engeri ekibiina ekisinga obuganzi mu ggwanga gyekisobola okukolaganamu nammwe okusobola okukomyawo obuwagizi bwakyo,” Todwong bwe yagambye.
Okusinziira ku Todwong ekitundu kya Buganda kirina ebizibu byakyo gamba nga bannakyalo abangi abeeyuna okujja mu bibuga nga bano bazze basale eddiiro nebadda mu bibiina ebirala.
Todwong asabye bannakibiina naddala ababaka okuyambako ekibiina okuyambako okuvuunuka ekizibu kino mwebali.
Kinajjukirwa nti ekibiina ki NUP kyefuga Buganda ne Busoga mu kalulu akawedde aka 2021.
Ssaabakunzi w’ekibiina ki NRM, Rosemary Nansubuga Sseninde agamba nti omulimu omukulu kwekulaba nga bannakibiina n’abakulembeze bafuba okulaba nti empeereza mu bitundu ebyenjawulo ebeera nnungi.
Ye omwogezi w’ekibiina, Emmanuel Dombo Lumala, yannyonnyodde nti bwekuba kuzza buwagizi kirina kukolebwa nga batandikira wansi mu byalo era basaabulule obulimba obubadde butambuzibwa ab’ ebibiina ebirala ku NRM